• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ebyenfuna

Katikkiro Mayiga atongozza Bboodi ya Buganda Land Board, abasabye okunoonya ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lya Buganda

Gambuuze by Gambuuze
August 29, 2023
in Ebyenfuna, Ebyobusubuuzi
0 0
0
Katikkiro Mayiga atongozza Bboodi ya Buganda Land Board, abasabye okunoonya ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lya Buganda
0
SHARES
49
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asomoozezza ekitongole kya Buganda Land Board okunoonya nokufeffetta nokuzuula ebiwandiiko ku ttaka lyonna eririna akakwate ku bwakabaka bwa Buganda.

Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mukutongoza bboodi empya ey’ekitongole kya Buganda eky’ebyettaka ki Buganda Land Board omukolo ogubadde ku Bulange Mengo ku Lwokubiri.

Kino kiddiridde Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okusiima naalonda olukiiko lw’ abantu 10 okutuula ku bboodi eno mu nkyukakyuka zeyakola gyebuvuddeko.

Abasabye okukuuma obulungi ebiwandiiko by’ebifo eby’ennono, bamanye n’ettaka ly’obwami: Katikkiro; Nnaalinnya Lubuga; Obuwanika; Obulamuzi; Amasaza n’amagombolola, ssaako n’okunoonya mayiro ekenda (9000), okunyweza Obuganda.

Katikkiro yebazizza nnyo bboodi enkadde olw’emirimu emingi gyekoze mu kukulaakulanya Obuganda era naasaba olukiiko oluggya okukozesa omusingi oguzimbiddwa bboodi enkadde okwongera okugatta ku Buganda.

Owek. Mayiga bano abasabye okunoonya, okuffeffetta nokumanya ettaka lyonna erya Buganda gyeriri babeere nebiwandiiko byalyo era batandise ku nteekateeka y’okulaba nti lidda.

Ye Minisita w’ettaka nebizimbe mu Buganda Owek. Daudi Fredrick Kisitu Mpanga akozeseza omukisa guno okweyanza empologoma olwokugonomolwako ekifo nasaba bboodi eno efube okukozesa obwerufu mu mpeereza yaayo eri abantu ba Kabaka.

 Owek. Mpanga agambye nti waakuyamba abantu okunyweza obusenze bwabwe ku ttaka lya Kabaka, olwo balikolereko eby’enkulaakulana ng’obulimi n’obulungi.

Yeeyamye okukola ne bboodi empya okulaba nga batumbula embeera z’abantu n’okubatuusaako obuweereza obulungi.

Ssentebe awummudde, Oweek. Martin Sseremba Kasekende, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’obuwagizi mu buweereza bw’abaddemu, n’asaba Bboodi empya okussa ensonga z’abakozi ku mwanjo.

 Ate ye Ssentebe Omuggya Omuk. Francis Kamulegeya yeyamye obutatiirira mpologoma ya Buganda mu mpeereza yaabwe nolukiiko lwagenda okukulembera.

 Bboodi eno eriko  Omuk. Henry Robert Kiggundu  ng’omumyuka wa Ssentebe ate bammemba kuliko Mariam Nansubuga, Hajjati Nayiga Sseguya, Owek. Ritah Namyalo Waggwa, Omuk. Paul Kavuma, Omutaka Namugera Kakeeto Nicholas Kasekende, Alex Nyombi, Ayub Kasujja, Omuk. JohnBaptist Kitenda, wamu n’Omuk. Simon Kabogoza.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist