Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza akakiiko akategesi akagenda okutegeka omukolo gw’okujjukira bwegiweze emyaka 29 bukya, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atuula ku Nnamulondo ya bajjajjabe okulamula Obuganda.
Owek. Mayiga okulangirira akakiiko kano asinzidde mu bimuli bya Bulange bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu Banna Ssingo nab’e Butambula abakiise embuga ku Lwokuna nakakasa nti omukolo guno gugenda kubaawo ku nkomerero y’omwezi guno nga 31, July 2022.
Akakiiko kano k’ abantu 7 nga kakulirwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, amyukibwe minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu Owek. Joseph Balikuddembe Kawuki ate Omuwandiisi ye mukungu Josephine Nantege.
Bammemba abalala ku kakiiko kano kuliko; Minisita Owek Noah Kiyimbae, Omuk. David Ntege ne Maj. Stanely Musaazi agenda okuvunaanyizibwa ku by’okwerinda.
Bw’abadde atongozza akakiiko kano, Katikkiro Mayiga agambye nti emikolo gy’omulundi guno gyakubeera mutonotono kuba wabaddewo emikolo mingi ebadde gyeddiringana.
Ono ategeezezza nti gano gakujjukirwa wansi w’omulamwa gw’okulwanyisa Mukenenya ogugamba nti, ” Okugoba Mukenenya mu bizinga nga abasajja be basaale.”
Omukolo guno gugenda kuvujjirirwa kampuni ya Airtel Uganda era Kitunzi waayo Ali Balunywa asinzidde wano nategeeza nti bakwongera okuwagira Obwakabaka mu nteekateeka ez’enjawulo zebuleeta.
Kinajjukirwa nti buli 31, July, Obuganda bwonna bukungaana okujjukira olunaku, Ssaaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi lweyatikkirwa mu 1993 e Naggalabi mu Buddo .