Bya Gerald Mulindwa
Mmengo
Katikkiro atongozza akakiiko akagenda okukola ku kuzzaawo emmotoka ya Ssekabaka Muteesa II, ekika kya Rolls Royce Phantom 5 eyaddizibwa Obwakabaka gye buvuddeko.
Owoomumbuga ategeezezza ng’atongoza akakiiko kano nti, embeera emmotoka eno mweri si nnungi era nga y’ensonga lwaki basazeewo okugiddaabiriza edde mu kitiibwa kyayo.
“Twasalawo emmotoka eyo tugizzeewo mu kifaananyi kye yalimu, mulimu munene nnyo naye era bulijjo ebinene tubikola naye sirowooza nti okuzzaawo Rolls Royce, mulimu munene okusinga okuzzaawo Obwakabaka, amasiro oba okumaliriza Masengere.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Owek. Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti akakiiko kano kagenda kwekenneenya ekyetaagisa okuzzaawo emmotoka eno mu kifaananyi kyennyini kye yalimu ng’emitawaana gya 1966 teginnaggwaawo.
Okusinziira ku Katikkiro, akakiiko kalina okutuukirira abakola emmotoka za Rolls Royce e Bungereza mu butongole era bafune omukugu bamanye ekyetaagisa okugizzaawo.
Akakiiko era katikkiddwa omulimu okumanya omuwendo ogugenda okwetaagisa okuzzaawo emmotoka eno nga beesigamye ku mulimu ogugenda okukolebwa okuzzaawo emmotoka eno.
Bano era bagenda kuteebereza ebbanga eryetaagisa okumaliriza omulimu gw’okuzzaawo emmotoka eno kubanga ebimu ku bintu byayo bigenda kuweesebwa bupya kuba tebikyaliwo.
Katikkiro Mayiga bano era abalagidde okukola enteekateeka omunaayitwa okufuna ensimbi ezeetaagisa era bakole ne alipoota mu bbanga lya myezi ebiri eraga bye banaabeera bazudde.
Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti eno y’emu ku ezo emmotoka Obwakabaka ze bwalina era nga Ssekabaka Muteesa yali agikozesa nga Pulezidenti.
Mayiga agasseeko nti bakyalondoola amayitire g’emmotoka endala ezikyaliwo era nga tebajja kukoowa kuzibanja gavumenti.
Akakiiko akalondeddwa kakulirwa; Omuk. John Fred Kiyimba Freeman, amyukibwa Omuk. Godfrey Kirumira ate Omuk. Joseph Yiga ye Muwanika.
Omulangira David Kintu Wasajja, Muwi w’amagezi, Prof. Gordon Wavamunno, Muwi w’amagezi, Omuk. Nnaalinnya Carol, Muwandiisi ate nga Gavana Emmanuel Katongole, Mukiise ku lukiiko luno.
Ssentebe w’akakiiko kano, Omuk. John Fred Kiyimba Freeman, ategeezezza nti beetegefu okukola omulimu guno mu bbanga eribaweereddwa era n’asiima olwa ttiimu emuweeredde okutambuza omulimu guno.
Olukiiko luno lugenda kutambulira wansi wa Minisitule y’eby’obulambuzi ekulemberwa Owek David Kyewalabye Male.