Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, atongozza akakiiko akagenda okutegeka amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 66 ag’okubaawo nga 13 Kafuumuulampawu, 2021.
“Buli mwaka Ssaabasajja Kabaka abaako gw’asiima okubeera Omugabe mu nteekateeka z’amazaalibwa. Omugatte tumugattako abantu abalala ne bakola akakiiko akakola byonna okujjukira amazaalibwa ga Ssaabawanguzi mu ngeri esaanidde.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza bannamwulire mu bimuli bya Bulange olwaleero.
Akakiiko akalondeddwa kagenda kulirwa Minisita w’ebyobulamu, ebyenjigiriza n’ekikula ky’abantu, Owek. Dr. Prosperous Nankindu, amyukibwe Owek. Hajji Amis Kakomo.
Abalala abakiika ku kakiiko kano kuliko; Omuk. Josephine Nantege Ssemanda nga muwandiisi, Owek. Richard Kabanda ne Baker Ssejjengo. Katikkiro Mayiga ategeezezza nti okusinziira ku kiragiro kya Ssaabasajja Kabaka eky’okunoonyayo omulamwa ogugoberera emikolo gy’amazaalibwa, ku luno omukolo gwakutambulira ku mulamwa, “Abavubuka babeere basaale mu kulwanyisa Mukenenya.”
Owek. Mayiga asabye abavubuka okwekuuma ekirwadde kya Mukenenya, beekebeze wamu n’okufuna eddagala eriweweza ku kirwadde kino ate n’abalamu babudeebude abazuuliddwamu n’ekirwadde kino kuba Omutanda ayagala abantu be, babeere balamu.
Ono asiimye Omutonzi olw’obulamu Katonda bw’awadde Kabaka kuba kino kiyamba okunyweza empagi Buganda kw’etudde omuli; ennono, obuwangwa, obukulembeze n’enkulaakulana.
Mu ngeri y’okunyikiza omulamwa, waakubeerawo emisinde gy’amazaalibwa, okujaguza amazaalibwa gennyini wamu n’okusabira Ssaabasajja Kabaka ne Buganda.
Entikko y’omukolo guno egenda kukuzibwa mu ngeri ya Ssaayansi olw’okwewala okusaasaanya ekirwadde kya Ssennyiga Corona.