
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza akakiiko akagenda okutegeka amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda II ag’omulundi ogwa 67.
Akakiiko kano Owek. Mayiga akatongolezza mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna n’akasaba okukola buli ekisoboka okuweesa Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka ekitiibwa.
Akakiiko kano kakulirwa; Owek. David Mpanga n’amyukibwa Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, abalala kuliko; Omuk. Josephine Nantege, Ow’essaza Kyaddondo Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa, Omuk. Roland Ssebuufu, Major Stanley Musaazi, Omuk. David Ntege.
“Gigenda kuwera emyaka 67 bukya Kabaka waffe azaalibwa, nga bwemumanyi nti ffenna tufuna amazaalibwa era gakuzibwa era mulamu obwabulijjo naffe tujaguza naye ku Kabaka kyawuka kuba Kabaka tazaalibwa ku lulwe naye azaalibwa ku lw’eggwanga. Ekyo kiri bwekityo kubanga Kabaka y’entabiro y’ennono, obuwangwa, ebyafaayo, obulombolombo n’empisa za Baganda.” Owek. Mayiga bw’alaze enjawulo.
Ono ategeezezza nti mu Buganda obulamu bw’abantu butambulira ku nnono n’obuwangwa mu nsonga zonna omuli amaka n’obukulembeze kuba Kabaka alina ebifundikwa bibiri eky’Obulangira n’ekyobufuzi ng’amazaalibwa ga Kabaka gayamba abantu okwongera okutegeera eggwanga Buganda ne bajjukira ebyafaayo.
Ssentebe w’olukiiko, Owek. David Mpanga yeeyamye okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno era bakuume ekitiibwa ky’Obwakabaka era bakole omukolo ogusaanidde ku lunaku olukulu nga luno. Owek. Mpanga ategeezezza nti amazaalibwa kuba kuddamu ssaala ya Buganda ey’okuwangaaza Ssaabasajja Kabaka.
Owek. Mpanga agamba nti omukolo guno gwakutandika n’essaala okuva mu Basodokisi e Namung’oona era n’okubayozaayoza olw’okufuna Ssaabasumba omuggya. Asabye banne bwebali ku kakiiko okukola buli kimu, buli kimu kitambule bulungi.
Emikolo gyakubeera mu Lubiri e MMengo era gyakugoberera ebiragiro bya Ssennyiga Kolona era abantu bajja kubeera batono.









