
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza omulimu ogukolebwa aba Kampuni ya Aunt porridge abakola obuugi olw’ okutondawo Emirimu n’ okuwa eggwanga eby’ okunywa ebiri ku omutindo.
Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu nsisinkano gyabaddemu nabakulira Kampuni eno e Bulange e Mmengo ku Lwokubiri nga yeetabiddwamu Minisita Israel Kitooke.
Owek. Mayiga ategeezezza nti abantu balina ebirowoozo bingi naye batya okubissa mu nkola ekibalemesa ennyo okukulaakulana era balina okufuna obuvumu obubasobozesa okuvaamu okutya olwo batwale ebirowoozo byabwe mu maaso.
“Obuyiiya kintu kikulu nga Muky. Nabweteme nnyini kampuni eno bweyakozesa nga obuugi buno yasooka buwa mwana we era bweyamutwala okumugemesa yegombesa nnyo abo abaamulaba mu ddwaliro era natandika okubaguza ku birungo by’obuugi ekyavamu ekirowoozo ekyakula natandikawo Aunt Porridge,”Oweek Mayiga bw’ annyonnyodde.

Abakuutidde okuba abamalirirvu nga tebatya eranga tebaterebuka naddala abakozi okutwaala kampuni ya Aunt Porridge ng’ eyaabwe nga bakola mu bwerufu nga bewala obubbi obukosa kampuni ekigiretera okugwa.
Owek. Mayiga abasabye bakole n’okwagala nga batekamu amaanyi mu mirimu gyabwe gyonna kuba emirimu bagyetaaga okweyimirizaawo okusinga Muky. Nabweteme ne bba kuba bbo bayinza obutakosebwa nnyo nga kampuni eggudde olw’entegeka endala zebaze bakola.
Abeebazizza olw’okuwagira emirimu gya Buganda nga beetaba mu myoleso egitegekebwa nga ogwali e Nabweru ku ggombolola naasaba abalala ogyettanira.
Mu ngeri eyenjawulo yeebazizza Mw. Baineomugisha olw’okuwagira mukyala we mu mirimu gy’akola n’obutakugira birowoozo bye nakakasa nti enkola eno yakwongera okubatwala mu maaso.
Kulwa ssenkulu wa Aunt porridge Muky.Nabweteme Angella, Mw. Hilary John Bainomugisha ategeezezza nti aba kampuni ya Aunt Porrigde basinze kwagala kwebaza buwagizi bwe bafunye mu Buganda okuva 2015 lwe bajja ku katale nga tebusalisemu nebeeyama okuwagira emirimu gya Nnyinimu.
Mw. Bainomugisha yeebaziza Obwakabaka okubawanga omwagaanya okwolesa n’okumanyisa abantu ebintu Aunt porridge byekola nga balowooza nti byebimu ku bibaleetedde okuwangula awaadi n’ okuganja mu bantu.