• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga atabukidde abawabula ku nteekateeka za Buganda awatali kuzeetabamu

Gambuuze by Gambuuze
February 11, 2022
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga atabukidde abawabula ku nteekateeka za Buganda awatali kuzeetabamu
0
SHARES
48
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kyaddondo

Kataktikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga aboggoledde abantu abenjawulo abavaayo okuwa Obwakabaka amagezi ku ngeri gye  bulina okutambuzaamu emirimu gyabwe kyokka nga tebeenyigira mu nteekateeka ezo ezizza Buganda ku ntikko nti bano balabe ba Buganda nnamba emu.

Katikkiro okwogera bw’ati abadde ku Lutikko e Namirembe ku mbaga Rawland Ssaaka Mulindwa ng’agattibwa ne mwana munne Evelyn Nagadya.

“Ntera okusanga abantu abambuulira biki ffe abakulembeze b’Obwakabaka bye tusaana okukola, oli akugamba nti muzimbe amalwaliro, omulala mutandike amakolero, omulala abavubuka mwogere okubakwatako babe bayiiya era beezimbe, omu yajja n’abing’amba kwe kumubuuza ku bino ggwe okozeeko ki, n’akolola,” Mayiga bw’annyonnyodde.

Owek. Mayiga agamba nti abantu engeri eno tebasobola kumuwa magezi ngeri bw’alina okuddukanyaamu Obwakabaka kyokka ng’enteekateeka z’Obwakabaka ozeewala.

Owek. Mayiga agamba nti oluusi bano basalawo nokunenya naye n’asiima omugole Mulindwa olw’okubeera omujjumbize ku nsonga za Buganda awatali kwagala bantu kumanya era enteekateeka ez’enjawulo azeetabyemu mu nkola ya ‘Mwoyo gwa Buganda ogutafa.’

Owek. Mayiga ategeezezza nti ensangi zino abantu bye basinga okukulembeza bye bizibu okuva mu kubuulirirwa awamu n’emitimbagano ky’agambye nti kirina okukoma kuba abavubuka abagenda mu bufumbo babeera bamanyi ekituufu ne kye baagala nga tebeetaaga kuzza mu bizibu.

Mayiga agamba nti buli muntu yeetaaga okubaako ky’akola so si kubeera mu bigambo okusobola okuzza Buganda ku ntikko kuba buvunaanyizibwa bwa buli muntu okutegeera ensonga Ssemasonga ettaano awamu n’okuzirwanirira.

Omukolo gw’okugatta abagole bano gukulembeddwamu omulabirizi w’e Mityana Kitaffe mu Katonda Ssaalongo James Bukomeko akuutidde abagole okukulembeza Katonda mu bufumbo bwabwe  beewale okweraguza ebintu bisobole okubanguyira.

Omukolo guno gwetabiddwako abagenyi ab’enjawulo omuli;  Katikkiro eyawummula Eng.J .B Walusimbi, Minisita w’abavubuka emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek.Henry Ssekabembe Kiberu, bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka okubadde okulira Nkuluze, Omukungu Ronald Kitenda n’akulira Buganda Land Board, Omukungu Simon Kaboggoza n’abantu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist