![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2025/01/WhatsApp-Image-2025-01-28-at-3.19.22-AM-1024x682.jpeg)
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye Ssenkulu w’ekitongole ky’Obwakabaka eky’obulimi ki BUCADEF omuggya, Alfred Bakyusa naamuyozaayoza wamu n’okumukuutira okwongera okutumbula eby’obulimi naddala emmwaanyi okutumbula embeera z’abantu.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri nga yeetabiddwamu Owek Hajji Amis Kakomo, Owek Israel Kazibwe Kitooke wamu ne ssentebe wa bboodi ya BUCADEF, Omuk. Dr Ben Ssekamate.
“Tetwagala bantu ba Buganda kwekubagiza kale olw’okuba BUCADEF eri butereevu mu mirimu egikolebwa abantu ba Buganda abasinga obungi, twagala ekitongole kiteeke essira mu kusitula omutindo gw’emirimu egyo,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Ono amusabye okulabanga assa essira ku mirimu egyokulunda, okulima ebirime ebyamangu nga kasooli kuba waliwo obulimi n’obulunzi obutetaaga ttaka ddene atenga buvaamu ensimbi abantu nebakulaakulana.
Kamalabyonna amukuutidde okuteeka amaaso ku biruubirirwa by’Obwakabaka nga bwebiri kunsonga ze mmwanyi; ayongere ku bungi obulimwa, okwongera ku mutindo gwazo okuviira ddala mu nnimiro awamu n’ensonga endala.
Amusabye okuba omuyiiya ku mulimu gwe kuba awo asobola okutambuza ebyo ebirabika nga ebizibu okufuuka ebyangu nga ayise mu kwekubiriza n’okunyikira era buli kyakola akiteekeko amaanyi.
Minisita w’Ebyobulimi n’Obulunzi mu Bwakabaka, Owek. Amis Kakomo ateegezezza nti emitendera gyonna gyayitibwamu bulungi omugggya era Omuk. Bakyusa alina obukugu okuva mu matendekero ag’enjawulo era akoledde ebitongole ebigundiivu nga Centenary Bank ne KCB Bank ekikakasa nti ye muntu omutuufu.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2025/01/WhatsApp-Image-2025-01-28-at-3.19.17-AM-1024x682.jpeg)
Ssentebe wa Bboodi, Omuk. Dr Ben Ssekamate agambye nti balina esuubi nti Omwami ono ajja kukyusa ebyo ebibadde tebigenda bulungi maaso.
Dr. Ssekamate agattako nti mu bingi bboodi byeneyisa kwe kulabika nti ekitongole kino kyeyimirizaawo okusingira ddala mu by’ensimbi nga ogumu ku muwatwa oguyiyiziddwa ye mmere enkalu efulumiziddwa ekitongole kino nga eyitibwa “Emmere yaffe”.
Kinajjukirwa nti ekitongole ki BUCADEF yatandikibwawo mu 1996 nga ekirubirirwa kyakuleeta nkulakulana mu bantu ba Kabaka era kulwensonga eyo yakwasibwa kawefube wa Mmwanyi Terimba buterevu mu 2016.