
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Omulabirizi wa Luweero omuggya Wilson Kisekka akyaddeko embuga n’olukiiko lwakulembera nalwo Obulabirizi buno okuwagira enteekateeka y’Emisinde gya Kabaka ku Ssande eno.
Rt. Rev. Kisekka abadde wamu ne Mukyala we, bannaddiini, abakulira amasomero g’Obulabirizi mu Bulemeezi n’abakulisitaayo ab’enjawulo.
Bw’abadde amwaniriza e Bulange, Katikkiro Mayiga ayozaayozezza omulabirizi Kisekka olw’okulondebwa mu kifo kino era nga Obwakabaka bumulinamu essuubi ddene okutambuza emirimu gya Mukama Katonda.
Owek. Mayiga ategeezezza nti obukulembeze bujjiramu ebisoomooza, naye amusabye ateme empenda okuvvuunuka ebisomoozo naddala ebyo ebiri mu buweereza bwayolekedde wakati mu kuyambagana, n’okuweebwa amagezi.
Ku nsonga ya mukenenya, Katikkiro asabye omulabirizi okwenyigira mu kaweefube w’okulwanyisa mukenenya mu Ssaza Bulemeezi kubanga ebibalo biraga nti Bulemeezi lye ssaza omusinga abasajja abakabasanya abaana abawala ate n’okulinnya kw’abantu abakwatibwa akawuka kuli waggulu.

Omulabirizi Wilson Kisekka, asuubizza okutambulira wamu n’Obwakabaka okulaba nga enteekateeka z’Obwakabaka ez’okukulaakulanya abantu, omuli emmwanyi terimba, eby’obulamu, eby’enjigiriza, nokulyowa omwoyo ziyitimuka mu banna Bulemeezi.
Obulabirizi buguze emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gya bukadde 3 okuwagira enteekateeka eno.









