
Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga asisinkanye Minisita wa Gavumenti Eyawakati ow’Ekikula ky’ Abantu, Hon. Betty Amongi naasaba abantu okuwa obuwangwa obw’enjawulo ekitiibwa, eggwanga linyirire okufaananako ennyonyi Muzinge eyatondebwa n’amabala agayawukana okutuukiriza obulungi bwayo.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu Minisita bw’abadde akiise Embuga okwogera ku nsonga ez’enjawulo.
“Bwetuba twogera ku buwangwa tugamba nti bwetubutebeera obulungi buli ggwanga nebyalyo nebikwatibwa bulungi olwo Uganda enyirire okukira ennyonyi Muzinge,” Kamalabyonna Mayiga bw’ategeezezza.
Ow’omumbuga annyonnyodde nti wadde obuwangwa bw’ abantu bwa njawulo naye kisoboka okukolagana obulungi n’okunyweza obumu mu ssanyu n’eddembe olwo ensi nekulaakulana.
Wano wasinzidde n’asaba Gavumenti okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka n’Ebitundu ebirala, kubanga nnyingi ku nteekateeka zino zigendererwamu okutumbula embeera z’obulamu bw’abantu bw bulijjo era bwatyo n’akubirizza abakulembeze mu Gavumenti bulijjo okufaayo okuteegera obuwangwa bw’abantu abenjawulo ne bakulembera.
Minisita Betty Amongi yeebazizza nnyo emirimu egikolebwa Gavumenti ya Kabaka egigendereddwamu okukulaakulanya abantu naddala enteekateeka ya Mmwanyi Terimba gy’agambye nti eganyudde abantu bangi mu Buganda ne mu bitundu bya Uganda ebirala.
Amongi era asuubziza okukolagana n’Obwakabaka okutuusa empeereza ez’enjawulo mu bantu naddala mu kutumbula obuwangwa n’enkulaakulana.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Minisita Anthony Wamala ow’Obuwangwa Embiri Amasiro Obulambuzi n’Ebyokwerinda, Minisita omubeezi owa Kampala Hon. Kabuye Kyofatogabye, n’abakungu abalala okuva mu Gavumenti eyawakati ne mu Bwakabaka.









