
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga asisinkanye Pulezidenti w’ ekibiina ki National Unity Platform (NUP) era nasinziira wano okusaba bannabyabufuzi okuwuliziganya wamu n’okuwang’ana ekitiibwa.
Wasooseewo akafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire era nga kayindidde mu Bulange e Mmengo wabula oluvannyuma abakulu bano boogeddeko eri bannamawulire.
“Ensi eno okula neeyitimuka nekinatusobozesa okutuuka mu ddaala lyebayita Yaddeyaddeko, twetaaga okuba nti tuwuliziganya nga bannayuganda. Sirowooza nti waliwo ensonga etasobola kwogerwako, awo nno ffe tulina eddoboozi ng’ Obwakabaka erigamba nti bannabyabufuzi ku mitendera gyonna ekisooka basinganemu ekitiibwa , eky’okubiri bawuliziganye,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.

Ow’omumbuga Mayiga agambye nti nga Buganda baagala okulaba obukulembeze nga butambulira ku mateeka era obussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu era enjuyi zonna zikendeeze ku busungu kulw’obulungi bwa Uganda.
Owek. Mayiga agasseeko nti singa bannabyabufuzi banatuula neboogera ku nsonga ezikwata ku bantu bonna ogwo gwegugenda okubeera omusingi gw’enkulaakulana mu ggwanga.
Katikkiro Mayiga agambye nti ogumu ku mirimu emikulu gyalina kwekwaniriza abantu ba Kabaka n’okubakumaakuma awatali kwawula mu nzikiriza za byabufuzi kasita oli abeera nga awa Ssaabasajja Kabaka ekitiibwa.

Mukwogera kwe Kyagulanyi ategeezezza nti bateesezza ku nsonga ez’enjawulo omubadde ekiwambabantu ekiri mu Buganda ne Uganda awamu n’embeera y’ebyenfuna eri mu ggwanga.
Kyagulanyi yeebazizza Kamalabyonna olw’okuvaayo nalwanirira abantu ababeera banyigirizibwa era namusaba obutalekaayo.
Ku bugenyi buno Kyagulanyi awerekeddwako, akulira oluda oluvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba Ssentebe w’akabondo ka Buganda, Muwanga Kivumbi, omubaka Flavia Kalulu Nnabagabe ne Sipiika wa KCCA, Zaharah Luyirika.










