
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye eyaliko Pulezidenti wa Nigeria, Goodluck Jonathan era naasaba abakulembeze ba Africa okumulabirako baweeyo obuyinza mu mirembe ensi zabwe zisobole okukulaakulana.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo leero ku Lwokutaano ng’eno, Pulezidenti eyawummula Jonathan n’abakungu abamuwerekeddeko batuuseeyo ku ssaawa nga Nnya ez’okumakya era baaniriziddwa Katikkiro Mayiga, Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omumbejja Dinah Kigga, Omumbejja Katrina Ssangalyambogo, Omulangira Felix Muteesa, Minisita David F.K Mpanga, Sipiika Mugumbule n’abakungu abalala.
Owek. Mayiga asinzidde wano nategeeza nti abakulembeze okulemera mu buyinza bakotogera abalala abalina ebirowoozo ebirungi okukulembera amawanga gabwe olusi ekigaviirako okusaanawo wamu n’okuzing’amya enkulaakulana.
Katikkiro Mayiga atendereza HE Goodluck Jonathan olw’okulaga obukulembeze obwekisajja kikulu nawaayo obuyinza mu Mirembe nasaba abakulembeze ba Africa okumulabirako bwebaba baagala amawanga gabwe okutebenkera.
Mukuumaddamula mu mbeera yemu annyonnyodde nti gavumenti za Africa zirina okumanya nti obukulembeze bw’ennono bwankizo nnyo mukutuusa obuweereza ku bantu kubanga babuwuliriramu nnyo nasaba babweyambise nnyo okusobola okutuusa obuweereza ku bantu.

Kamalabyonna Mayiga yeebaziza H.E Goodluck Jonathan olw’okukiika embuga nti okujja kwe kwa kwongera enkolagana ey’omuggundu wakati w’Obwakabaka bwa Buganda n’eggwanga lya Nigeria.
Ye Pulezidenti wa Nigeria Eyawummula Goodluck Jonathan mukwogera kwe atendereza Obwakabaka bwa Buganda olw’okukulemberamu kaweefube w’okukulaakulanya abantu bakabaka bwatyo nasuubiza okudda asisinkane Empologoma bweriba esiimye.

Omumyuka owokubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa alambululidde abagenyi enteekateeka z’Obwakabaka ezenjawulo.
Omugenyi atonedde Ssaabasajja kabaka ebirabo ne Katikkiro namuwa ebirabo okubadde n’ekitabo ekyatuumwa Buganda the Gateway to the Paerl of Africa.
Oluvannyuma Pulezidenti Goodluck Jonathan alambuziddwa Katikkiro ebifo ebyenjawulo okubadde n’ekisenge ky’Olukiiko lwa Buganda wakati mukumuyitiramu ku bitonotono ebikwata ku bintu bino.









