Bya Musasi Waffe
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubiriza bannabyamizannyo okukozesa obulungi akaseera kebafuniramu ettutumu batereeze ebiseera byabwe eby’omu maaso era bakulaakulane.
Obubaka buno Kamalabyonna abuweeredde mu nsisinkano gy’abaddemu n’ abaddusi b’emisinde ababadde bakulembeddwamu Halima Nakaayi ne Winnie Nanyondo e Bulange Mmengo ku Lwokusatu.
” Mbeebaza olw’okuyitimusa eggwanga lyaffe mu nsi yonna nga muyita mu mizannyo era mbasaba mukozese ebiseera bino mwe mulina ettutumu okwetegekera ebiseera by’omumaaso, kubanga mu mizannyo omuntu atuuka ekiseera ng’omubiri tegukyasobola,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga agamba ebitone bisobola ddala okuyamba okuyimirizzaawo omuntu era bisaana okutwalibwanga omulimu naye naakutira bannabyamizannyo bulijjo okubeera n’empisa.
Abavubuka abakuutidde abavubuka okwezuula bamanye ebitone byebalina kubanga bino bisobola bulungi okukyuusa obulamu bwabwe.
Minisita w’ Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga ategeezezza nti Buganda ewagira nnyo ebyemizannyo era mu nteekateeka eno Obwakabaka bwakuzimba ebisaawe mu masaza ag’enjawulo okutumbula ebitone.
Owek. Sserwanga akubirizza abaddusi okugenda mu maaso n’omutima oguwangula bongere okutereeza obulamu bwabwe n’okuweesa ebitundu byabwe ekitiibwa.
Amyuka akulira Pulezidenti w’ekibiina ki Uganda Athletics Federation, Lawrence Kavuma ayanjulidde Kamalabyonna ku nteekateeka gyebalina okulaba nti omuzannyo gw’ emisinde gujjumbirwa mu bitundu by’ eggwanga ebyenjawulo.
Ye Halima Nakaayi asabye bamusaayimuto okutumbula ebitone byabwe nga bayambibwako abazadde era naalaajanira amasomero okuyambako bazuule ebitone mu baana era abasukkulumye babawe sikaala.
Bino webijidde nga Nakaayi yakamala okukiikirira Uganda mu mpaka za Olympics ezali e Paris mu Bufalansa era kati obwanga abwolekezza mpaka za World Atheletics Championship ezigenda okubeera mugwanga lya Japan nga muzino mweyawangulira omuddala ogwa zzaabu mu mmita 800 mu mwaka gwa 2019 ezaali e Doha mu Qatar.