• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga asisinkanye ab’omukago gwa Bulaaya (EU)

Gambuuze by Gambuuze
June 24, 2022
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga asisinkanye ab’omukago gwa Bulaaya (EU)
0
SHARES
38
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akyazizza ababaka b’amawanga ga Bulaaya abeegattira mu mukago gwa European Union nebateesa ku ngeri ez’enjawulo gyebasobola okukwataganamu okusobola okutumbula embeera z’abantu mu Buganda ne Uganda.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo  ku Lwokutaano nga ababaka bano babadde bakulembeddwamu Ambasada Atilio Pacifico.

“”Tubadde bamukisa okwaniriza ababaka b’amawanga ge Bulaaya okuva e Belgium, Germany, Sweden, Ireland ne Netherlands, twogedde ku nsonga  nga 8 esooka; omwana omwana omuwala okufuna embuto, abaana abawala bafuna nnyo embuto mu muggalo era Obwakabaka n’ababaka b’amawanga gano tulowooza nti omwana alemwe kumibwa mukisa kumaliriza misomo gyabwe kuba omwana okuzaala nga akyali muto kyakabi naye bwatasoma gubagujabagidde,” Owek. Mayiga bw’ annyonnyodde.

Owek. Mayiga agamba nti ku nsonga y’ebyenjigiriza bawagira ekya baana okubasusa ebibiina okusobola okuliyirira emyaka gyebafiirwa kuba singa abaana tebasoma olwo eggwanga libeera mu buzibu.

Ono agambye nti ku nsonga ya ssente ezinabuuse ennyo balowooza nti singa gavumenti ekendeeza ku nsaasaanya n’emisolo gyeteeka ku bantu kisobola bulungi okutaasa embeera kuba ebbanga abantu lyebamala nga tebakola mu muggalo lyakosa nnyo ebyenfuna.

Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti ku nsonga y’okugemesa ekirwadde ki COVID-19 bakaanya bulungi nnyo n’ababaka bano abantu bonna abali waggulu w’emyaka 18 okugenda bagemebwe naye tebawagira kyakugema baana bato awatali lukusa lwa bazadde.

Ku ttaka, Katikkiro Mayiga ategeezezza nti ebyetaaga okutereezebwa  ye woofiisi ye ttaka, poliisi efune obukugu, kkooti ziramule ensonga zino mu mangu, abantu bakubirizibwe okuliikiriza ettaka nga balunda, gavumenti ekomye okweyingiza mu misango gy’ettaka kuba Mayiro si kyekizibu.

Owek. Mayiga alambise nti ku nsonga y’abantu abeeyongera ennyo mu ggwanga, Buganda erowooza nti kivudde ku bwavu kuba omwavu abeera n’ebiseera ebizaala bingi era nasaba bakwatagane n’omukago guno okuyamba abantu bagaziye ku nyingiza yabwe basobole okufuna eby’okukola.

Ensonga endala ly’eddembe ly’obuntu , ku kino Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti basaba gavumenti ebonereze abatyoboola eddembe ly’obuntu era eyongere amaanyi mwabo abakwasisa amateeka n’ebiragiro okuziyiza ebikolwa bino.

Akulembeddemu b’Ambasada bano, Atilio Pacifico, yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’ensisinkano eno nategeeza nti ebayambye nnyo okumanya ekituufu ekigenda mu maaso mu ggwanga naddala nga bakyalira Obwakabaka okumanya Uganda gyevudde wamu nejjeraga.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu Minisita Prosperous Nankindu Kavuma ne Minisita ow’emirimu egy’enkizo mu Buganda, Owek. David Mpanga.

Share this:

Tags: Atilio PacificoDavid MpangaDr. Nankindu KavumaEuropean Union (EU)Katikkiro Charles Peter Mayiga
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.