
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde Abalangira abasibuka e Ssanje mu Rakai okunyweza obumu mu bantu ba Buganda kuba ebaddewo okumala ebyasa n’ebyasa basobole okulaakulana.
Okwogera bino, Katikkiro Mayiga abadde asisinkanye Abalangira Ababiito n’ Ababiitokati abavudde e Kkooki e Bulange Mmengo ku Lwokubiri.
Bano, Owek. Patrick Luwagga Mugumbule Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda naye nga Mulangira we kooki yabanjudde eri Katikkiro nagamba nti kino baakirinda obwedda kuba kyongera okubanyweza.
Katikkiro bano asoose kubayitiramu ku nsibuko y’essaza lino erye Kkooki kuba lya Buganda okuva mu 1896 nga kino kiva mu ndagaano eyakolebwa wakati wa Kabaka Mwanga ne Kamuswaga Ndahura oba Ndawula bwatyo nabasaba obutawubisibwa naye banyweze ennono yabwe era basigale nga bawulize eri Nnamulondo.

Owek. Mayiga abasabye bulijjo okunyikiza obumu kubanga kino kimu ku biyambye Buganda okuyitimuka nokusuka amayengo gonna agagirumba.
Eyakulembeddemu Abalangira bano, Enock Lwabulanga Mugenyi agambye nti bakutambulira mu buufu bwa Bajjaja bwe abatandika olugendo luno nobwa Kabaka bwa Buganda era tebalina gyebalaga.
Luwabulanga akakasizza nti Ababiito bakkiririza mu Bwakabaka bwa Buganda, wadde nga waliwo abawubisibwa naye nakino bakukirwanako.