Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okumanya nokutegeera abantu bebakulembera olwo kibayambe okusobola okubeesiga era baleme kwekuumira nnyo mu bifo.
Okwogera bino Owek. Mayiga abyogeredde ku kitebe kya Kampuni eno ku Clement Hill mu Kampala ku Lwokuna bw’abadde abayitiramu kwebyo ebimusobozesezza okuwangula mu myaka 10 gyamaze ng’akutte Ddamula.
Mukuumaddamula asinzidde ku mukolo guno neyeebaza olw’enkolagana Airtel gyerina ne Buganda esobozeseza ebintu okuguka omuli emisinde gyamazaalibwa ga Kabaka, Okusiibulula abasiraamu, empaka z’Amasaza n’ Ebika by’ Abaganda n’ebirala.
Katikkiro ababuulidde ensonga 3, ezimuyambye okuweereza Obuganda mu bbanga eryo okuli: Okutegeera embeera abantu gye balimu, n’okusala amagezi ag’okukyusa engeri gye balabamu ebintu; okuttukiza kaweefube w’okulima emmwanyi, okugoba obwavu, n’okutumbula ebyobulamu.
Ono agambye nti abantu basaana okwerwanako, beewale okwekubagiza olwo basituke balwanyise obwavu.
Akulira kampuni ya Airtel – Uganda, Morali Manoji yeebazizza omukago oguliwo wakati wa Buganda ne Airtel gwagambye nti gubagaseeko nnyo nga kkampuni y’ebyempuliziganya nokutuuka mu bantu ebitundu ebisinga.
Ye omwogezi wa Airtel – Uganda, Ali Balunywa akinoganyiza nti enkolagana eno egenda kwongera okugumizibwa era bakwongera okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka zonna.
Ku bugenyi buno, Katikkkiro abadde awerekeddwako Omuwanika wa Buganda era Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, minisita w’ensonga ez’enkizo Owek. Daudi Mpanga, Ssentebe wa BICUL Omuk. Rowland Ssebuufu, Omuk. Remmy Kisakye owa Majestic Brands n’abalala.