• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga asabye gavumenti ewagire bannansi abongera omutindo ku Mmwaanyi nga tenanoonya baggwira

Gambuuze by Gambuuze
August 10, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro Mayiga asabye gavumenti ewagire bannansi abongera omutindo ku Mmwaanyi nga tenanoonya baggwira
0
SHARES
63
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Lwengo – Buddu

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye gavumenti eveeyo eyambeko ku bannayuganda abagatta omutindo ku kirime ky’ emmwaanyi nga tenanoonya baggwira kubakwasizaako.

Okusaba kuno Owek. Mayiga akukoledde Mbiriizi e Lwengo mu Buddu ku Lwokusatu bw’abadde alambula abalimi b’emmwaanyi mu nteekateeka y’ Emmwaanyi Terimba egendereddwamu okugoba obwavu mu bantu ba Kabaka.

“Abali ku ggwe mmwaanyi abazongeddeko omutindo nga bannayuganda gavumenti beeba ekwatizaako, abagwira ebaviireko ddala. Bagamba nti bw’oyongerako omutindo oyongera okufuna ssente ate nga kituufu, bwaba Nabatanzi asiika kkaawa ate lwaki nnoonya Allan Smith,” Katikkiro Mayiga bw’abuuzizza.

Owek.  Mayiga annyonnyodde nti omulimu gw’emmwaanyi guliisa abantu bangi omuli abazirima, abazitunda kuno n’ebweru awamu nabo abazisunsula bwatyo nalaga obwetegefu okwaniriza ensonga zonna ezitereeza omulimu guno omuli n’okusitula omutindo singa zisosoowaza bannansi okusinga.

Owek. Charles Peter Mayiga bw’atuuse  mu ggombolola ya Mituba VII  e Kyenvuunikidde mu nnimiro ya Yosum Muyambi omunyarwanda wa Kabaka  ng’ono alina yiika ezisoba mu 35 mu bitundu ebyenjawulo, abaayo abasabye emmwanyi okugiwa obudde nga omulimu gwonna omulala okusobola ogufunamu.

Ono era abasabye abazifunyeemu okuyambako abalala kuba tebasobola kubeera bulungi nga balirwana babwe bali bubi bwatyo nabasaba bagabane amagezi n’endokwa kibayambe okulaakulanira awamu olwo Buganda edde ku ntikko.

Ye Minisita omubeezi ow’Ebyobulimi n’Obulunzi  Owek. Hajji Amis Kakomo, yebazizza Mukuumaddamula olwa kawefube n’okulungamya kwakola ku nsonga y’emmwaanyi.

Omulimu Kafeero yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubalambika entakera ku nsonga z’emmwaanyi awamu n’okubakubiriza bulijjo okubeera abakozi.

Mukulambula kuno Katikkiro, asookedde wa Munnyarwanda wa Kabaka  Owek. Yosam Kafeero Muyambi, oluvannyuma atuuse e Kaselutwe ewa Wilson Ntambazi, yeeyongeddeyo ku ffaamu ya Muhigira Coffee Estate era nalambula omulimi Patrick Ssemanda awamu n’omuvubuka  Lawrence Kabumbuli nga bonna abasabye okunyweza ekkubo lyebakutte.

Mu nteekateeka eno, Kamalabyonna abadde awereekeddwako minisita w’ Abavubuka,  Emizannyo n’Okwewumuza Owek. Henry Kiberu Ssekabembe,  Minisita w’ Amawulire Owek. Noah Kiyimba awamu n’abakungu abalala.

Share this:

Tags: Emmwaanyi TerimbaKatikkiro Charles Peter MayigaMinisita Amis KakomoMinisita Noah KiyimbaMinisita Ssekabembe
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.