Bya Francis Ndugwa
Bulange -Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde gavumenti amagezi okuteekawo obwerufu n’obulambulukufu ku nteekateeka ez’enjawulo zereeta okuggya abantu mu bwavu.
Amagezi gano Katikkiro Mayiga agaweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu bw’abadde bannakibiina ki NRM abazze okumwanjulira enteekateeka ya Parish Development Model ey’okuggya abantu mu bwavu gavumenti ng’etandikira ku miruka abakulembeddwamu atwala ekibiina mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi.
“Parish Development Model n’enteekateeka za gavumenti endala bwezinaaba ez’okukola zirina kukolebwa mu bwerufu. Bwezinaaba tezikolebwa mu bwerufu abantu nebalowooza nti mulimu ababale abaziganyulwamu tebajja kuziwagira,” Owek. Mayiga bw’agambye.
Bano abasabye okwewala obulyake mu nteekateeka za gavumenti zikole ekituufu ekyaziweereddwayo okukola kiyambe okuteekawo obwesige mu bantu.
“Abantu nga beekolera, teri gavumenti esobola kuwa bantu ssente nebagaggawala tekisoboka ebeera yaziggye wa!! Naye bwolima emmwaanyi nga omukulu Galabuzi bwazirima olwo gavumenti esobola okukwasizaako kubanga balandiza kibaze, baseesa gwaakka.”
Owek. Mayiga alaze nti ekizibu ekisinga mu Yuganda essaawa eno bwe bwavu obuli mu bantu obutuusizza abantu okuggwa mu mmere ku mikolo basobole okufuna eky’okulya ekireetedde abazadde okusuula obuvunaanyizibwa bwabwe.
“Abawagizi bammwe bwebanalowooza nti mujja kubawa ssente bagaggawale bajja kufa nga baavu.Ate bwemutegendereze obwavu bwebunaleeta obusungu bw’abantu,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Katikkiro Mayiga asabye abali mu buyinza baleke abantu beekolere kuba balina obumanyirivu n’amaanyi okukyuusa obulamu bwabwe bakulaakulane kubanga mazzi masabe tegamala nyonta.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda tebusosola mu nzikiriza za byabufuzi wadde amadiini kati omuntu abeera nga ateeka ekitiibwa mu Buganda ne Ssaabasajja Kabaka nasaba abantu ba Kabaka okukomya okutwala eby’obufuzi nga akazannyo.
Minisita avunaanyizibwa ku by’Obuwangwa, Embiri n’Olulimi Oluganda, Owek. David Kyewalabye Male asabye enteekateeka eno etuusibwe wansi mu bantu baleme kuwa bantu nsigo mu budde bwa musana.
Mukwogera, Ssentebe Kiwanda Ssuubi, ategeezezza nti obwavu bukyali bungi mu Buganda wabula nasiima enteekateeka za Buganda okukyuusa embeera z’abantu nga bayita mu kukola obutaweera nalaga nti nabo nga gavumenti basitukiddemu.
Ye akulira enteekateeka ya Parish Development Model, Denis Ssozi Galabuzi, annyonnyodde nti eno yemu ku nkola zebaagala okweyambisa oluvannyuma lw’okuzuula nti enteekateeka ez’enjawulo eziteereddwawo siremeddwa okutuukiriza ebigendererwa byazo.