Bya Francis Ndugwa
Old Kampala – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannayuganda bonna okubeera obumu naddala ku nsonga z’ebyobulamu kuba zino zibanyigira wamu awatali kusosola era balwane okuzitereeza.
Okwogera bino Kamalabyonna Mayiga abadde yeetabye mu nteekateeka y’ okugaba omusaayi ku kisaawe ky’ essomero lya Old Kampala mu Kyaddondo ku Lwokubiri.
“Mbasaba tubeeere bumu bwekituuka ku by’obulamu. Tubeere bumu tusoosowaze eby’obulamu, gavumenti nabuli muntu yenna asse eby’obulamu ku mwanjo. Amalwaliro gazimbibwe, gateekebwemu eddagala, ebyuma ebikebera abalwadde, abasawo abamala batendekebwe era basasulwe bulungi,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga asabye abantu okumanya nti ebyobulamu tebisosola mu ddiini, ebyobufuzi wadde amawanga kubanga abantu bonna balwala era bafa.
Ono asabye amaterekero g’omusaayi gateekebwe mu bitundu ebyenjawulo okwetoloola eggwanga kisobozese okwanguyiza abagwetaaga.
Mukuumaddamula Mayiga annyonnyodde nti wadde kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko agenda mu maaso naye tasobola kutuukirira nga abantu ba Beene si balamu bwatyo nasaba abasajja okujjumbira okugaba omusaayi.
Ono yeeyamye okukolagana ne Gavumenti eyawakati nakakasa nti wadde balina bye babanja nga Federo n’ebirala naye ku nsonga z’ ebyobulamu bakusitukiramu balwanire wamu.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga abasabye okudduukirira abakyala abagenda okuzaala, ab’ obubenje, abalina Nnalubiri (Sickle Cells) basobole okutaasibwa.
Ye Omuteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ ebyobulamu, Dr. Diana Atwiine yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’ obuteeganya nawaayo kyonna okutumbula embeera z’ abantu si eri Baganda bokka naye n’abalala.
Dr. Atwiine asabye abantu obutakoowa kuwaayo kuba buli lukya babeera beetaaga omusaayi kuba tegusobola kuwangaala kusukka myezi 3 kyokka ate tegulina kkolero.
Loodimmeeya wa Kampala Erias Lukwago yeebazizza Beene olw’ enteekateeka eno n’okulengerera ewala bwatyo nasaba gavumenti okuvaayo ekwasizeeko Obwakabaka ku nteekateeka nga zino.
Omuloodi Lukwago yennyamidde olw’obubenje obususse okwetoloola ekibuga kuba ku buli mitwalo 10 egyabantu abafuna obubenje mu Kampala, 10 ku bano tebalutonda.
Ono akunze aba booda booda okwettanira enteekateeka eno kuba bebasinga okugwetaaga oluvannyuma lw’okunoonyereza okulaga nti bebasinga okufuna obubenje.
Enteekateeka ya leero yeetabiddwamu; Omukubirizi w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule; Baminisita, Owek. Noah Kiyimba, Owek. David Kyewalabye Male, Owek. Joseph Kawuki n’abalala.
Enteekateeka eno ewagirwa ekitongole ki Kabaka Foundation ne bannamikago okuli; Uganda Red Cross Society , Uganda Blood Transfusion Services , Radio ya CBS FM ne BBS Terefayina.