
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Kamalabyona Charles Peter Mayiga akubirizza bannayuganda okussa ekitiibwa mu ddembe ly’abantu abaliko Obulemu, kibasobozese okubeera mu bulamu obweyagaza ng’abalala.
Katikkiro okwogera bino abadde ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo ku mukolo gw’okwefumiitiriza ku bantu abaliko obulemu, omulundi ogusookedde ddala mu Buganda wansi w’omulamwa; “Okufumiitiriza ku bulemu obw’enjawulo, okwerula emikisa n’Obuweereza obutasosola.
Owek. Mayiga era alabudde abantu okukomya okusosola abantu abaliko obulemu kuba ebikolwa bino bibamalamu essuubi. Ono agamba nti ekizibu ky’abantu abaliko obulemu okweyongera kivudde ku bo bennyini okwesisiggiriza olwo eddembe lyabwe ne lirinnyirirwa.

Mu kaweefube w’okutumbula embeera z’abantu bano, Obwakabaka bubakoledde ekifo ekituumiddwa essenvuzo we bagenda okuyita okuyingira mu kizimbe oluvannyuma lw’okizuula nti bano babadde basumbuyibwa amadaala aga bulijjo.
Enteekateeka eno, etongozeddwa Nnaalinnya Dorothy Nassolo ng’awerekeddwako Katikkiro Mayiga, omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Twaha Kaawaase, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu mu Buganda, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma awamu n’abalala.
Kinajjukirwa nti alipoota y’ekitongole by’ebibalo mu ggwanga ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) gye yakola ng’ebala abantu mu 2016, yalaga nti ebitundu 12.4 ku buli kikumi be balina obulemu obwenjawulo ku kibiri gyabwe wabula ekyewuunyisa abasinga ku bano bali mu Buganda.
Ku mukolo gwa leero, Kamalabyonna Mayiga aliko ebintu ebikozesebwa mu bulamu bwa bulijjo okubayambako.
Katikkiro agamba nti Obwakabaka bwakulwanirira abantu abaliko obulemu okulaba nga nabo tebalekerwa mabega, ky’agambye nti kyakuyambako n’okuzza Buganda ku ntikko era olunaku luno lugenda kukuzibwanga buli mwaka.

Ye Nnaalinnya Dorothy Nassolo Namukabya nga y’abadde omugenyi ow’enjawulo ku mukolo guno yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okuteekawo essenvulo kyokka n’asaba ne Gavumenti n’ebitongole ebirala ebyolukale okulabira ku Bwakabaka kye bukoze.
Ye Minisita Prosperous Nankindu Kavuma ategezezza nti wakyaliwo omulimu munene okuteekawo enkolagana n’abantu abaliko obulemu okwongera okubategeera okusobozesa empeereza nnungi gyebali.
Ate Ssentebe w’akakiiko ka Equal Opportunity Commision, Hajati Sophia Nalule ategeezezza nti kino kye kiseera gavumenti okuteekawo enteekateeka eziyamba abaliko obulemu ng’amatendekero, amasomero n’ebintu ebirala ng’abantu abalala.
Bo abaliko obulemu abeetabye ku mukolo guno basiimye Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka olw’okufaayo eri abantu be.
Omukolo gwetabiddwako n’abaami b’amasaza abantu abaliko obulemu obwenjawulo okugeza; bamuzibe, abakozesa olulimi olw’obubonero n’abalala.









