Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubiriza bannabyamizannyo okunyweza empisa bweba baagala okutwala ebitone byabwe mu maaso.
Owek. Mayiga bino abyogeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde asisinkanye Omukulembeze wa FUFA, Omw. Eng. Moses Magogo, ng’ono abadde azze okwanjulira Katikkiro tiimu z’omupiira eziva mu kitundu kya Buganda, ezigenda okwetaba mu mpaka za FUFA DRUM.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti awatali mpisa kijja kubeera kizibu okuganyulwa mu muzanyo gwo mupiira nabasaba bulijjo okukola obutaweera nga batumbula omupiira wano n’ebweru.
Owek. Mayiga abajjukizza nti omuzanyo gw’omupiira ssi muzanyo buzannyo wabula kintu ekisobola okubayamba okwongera okutumbula ebitone byabwe n’okubayimirizaawo mu bulamu obwa bulijjo.
Ono asabye abaddukanya omupiira okuggya eby’obufuzi mu mupiira bweba baagala okugutwala mu maaso n’okwongera okugwagazisa abalala.
Minisita w’Abavubuka n’Emizannyo mu Bwakabaka Oweek. Henry Ssekabembe Kiberu, atenderezza eby’emizannyo by’agambye nti bitumbula empisa ate binyweza n’obumu.
Owek. Ssekabembe agambye nti Buganda egenda kusindikayo abantu 90 basome ebikwata ku muzannyo gw’omupiira bafune obumanyirivu mu kuddukanya empaka z’Amasaza.
Akulira ekibiina ekitwala omupiira mu ggwanga, Eng Moses Magogo ategezezza katikkiro nti ekikopo kya Drum kyali kirooto bulooto nga kati musanyufu okulaba nga kyamala nekituukirira.
Magogo yeebazizza Obwakabaka okubawa ettaka e Lugazi okugenda okuzimbibwako ekisaawe.
Ensisinkano eno yeetabiddwako Minisita Ssekabembe Kiberu, akulira FUFA, Moses Magogo, omumyuka we Rogers Byamukama, omubaka wa Palamenti Patrick Nsanja, Andeleya Kaweesa, Diriisa Kasalirwe n’abalala.