Bya Ssemakula JohnBuvumaKatikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannabuvuma okutumbula eby’obulambuzi kibayambe okwongera okulaakulanya ekitundu kino era kiyambe okuzza Buganda ku ntikko.Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoze asisinkanye abakulembeze ba disitulikiti y’e kitundu kino ku Buvuma Resort Beach Hotel ku Lwokubiri ne bateesa ku nsonga ez’enjawulo mwe basobola okuyita okwekulaakulanya.
“Mwebale nnyo mmwe bannabuvuma abakoze enteekateeka ezikulaakulanya ebizinga bino, bwe twabadde ku disitulikiti Mw. Chuna yagambye nti tuleete bamusigansimbi naye bano balabira ku mmwe bye muba mukoze. Mwebale nnyo mmwe bannabuvuma abakoze enteekateeka ezikulaakulanya ebizinga bino, bwe twabadde ku disitulikiti Mw. Chuna yagambye nti tuleete bamusigansimbi naye bano balabira ku mmwe bye muba mukoze olwo nabo nebaguma.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Ono agasseeko nti Buvuma kye kimu ku bifo mu Uganda ebisobola okubeeramu obulambuzi obwamaanyi era wano tugendera nnyo ku bya balala bye boogera ng’abaalinawo ku ssente baagala kugenda Dubai oba Mombasa naye nga kizibu okugeraageranya Mombasa ku Buvuma.
Okusinziira ku Mayiga, ebisikiriza abantu okugenda e Dubai byonna bipangirire nga tebisobola kwenkana muwendo ku bizinga nga Buvuma eby’obutonde.
Bano abasabye bafube okukuumira waggulu omutindo gwa buli kimu kye bakola kuba kino kisalawo kinene ku bakasitooma be bafuna n’enkulaakulana gye banaafuna.
Kinajjukirwa nti Kamalabyonna agenda kubeera mu bizinga bino okumala ennaku ssatu nnamba ng’atongoza enteekateeka y’Emmwanyi Terimba okusobola okuggya abantu ba Kabaka mu bwavu era ekitundu kino kikulaakulane.