Bya Francis Ndugwa
Busamizi – Buvuma
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga asabye bannabuvuma ku mulimu gwe basinga okukola ogw’okuvuba bakugatteko okulima kibayambe okwongera ku nnyingiza yaabwe basobole okukulaakulana.
Bino Kamalabyonna abyogeredde ku mbuga y’e Ssaza Buvuma e Majjo ng’atongoza enteekateeka y’Emmwanyi Terimba mu kitundu kino okusobola okweggya mu bwavu.
“Teri muntu n’omu mu nsi eno eyali ayiseemu nga tasoose kuggwa, okuggwa ky’ekitundu ekisooka eky’obuwanguzi, mu kulima emmwanyi mulimu obuwuka era mulimu ebbeeyi okuggwa naye olina kulemerako.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Okulambula Kamalabyonna akutandikidde mu ggombolola y’e Busamizi mu muluka gw’e Kirongo ku kyalo Galigatya ku nnimiro gy’asookedde ey’omuvubuka Ssennabulya Robert era ono amulaze okusomooza kwe yasanga mu busuubuzi bwe yasookamu okutuusa lwe yadda mu kulima emmwanyi.
Owek. Mayiga akubirizza abavubuka okwewala okwekibagiza naye basitukiremu era beenyigire mu nteekateeka z’Obwakabaka okusobola okweggya mu bwavu n’abawa amagezi ku ngeri gye basobola okulwanyisa akawuka k’emmwanyi abangi ke basinga okwekwasa.
Ono abasabye okuwang’ana amagezi mu buli kye bakola basobole okuzuula ekkubo ettuufu lye balina okukwata bw’eba baagala okubaako we batuuka.
Katikkiro bw’abadde mu ggombolola eno yeemu eye Busamizi alambudde ennimiro ya omwami Kizito Lawrence ku kyalo Butende era Owek. Mayiga n’amulambika mu ebyo by’alina okukyusa bw’aba ayagala okwongera okufuna mu mmwanyi.
Yeyongeddeyo mu ggombolola y’e Nairambi ku kyalo Buliba Katikkiro alambudde ennimiro ya Ssozi Deo kyokka era nga mulunzi naye n’amuwa entanda ku kukuuma omutindo gw’emmwanyi ze okusobola okufunamu ekyegasa.
Wano omubaka w’ekitundu kino mu Palamenti, Robert Migadde Nsubuga yeeyamye okwongera okwegatta ne balimi banne basobole okunogera ebizibu bye basanga ng’abalimi b’emmwanyi eddagala.
Abalimi bafunye amagezi okuva ku baminisita mu Bwakabaka abakwatibwako obutereevu okuli; Owek. Mariam Mayanja Nkalubo ne Owek. Hajji Amis Kakomo awamu n’abalimisa ku kiki ekituufu ekirina okukolebwa mu bulimi bw’Emmwanyi.
Ate ye Minisita avunaanyizibwa ku bavubuka mu Bwakabaka, Owek. Henry Fred Kiberu Ssekabembe abavubuka beeno ne Buganda okutwaliza awamu abakubirizza okubeera abavubuka abagasa era bakomye okunyooma emirimu.
Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza lino Ssaalongo Kayizza Lawrence Mbuubi yeebazizza Kamalabyonna olwokulambula essaza lino..
Mu kulambula kuno Katikkiro awerekeddwako; ba minisita avunaanyizibwa obutereevu ku by’obulimi, Owek. Hajji Amis Kakomo, Owek. Noah Kiyimba, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo n’abakulira ebitongole by’obulimi mu Buganda okuli BUCADEF n’ebirala.