Bya Francis Ndugwa
Kitovu – Buddu
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abayizi ku ssomero lya St. Henry’s College Kitovu okubeera abeesimbu bweba baagala okuwangaalira mu nsi nga basanyufu era abawanguzi.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde ku Lwakutaano bw’abadde alambula essomero lya lino gyeyasomerako bw’abadde agezeeyo okulabula ku bayizi n’okubazzaamu abayizi .
“Bw’oba oyagala okubeera omuwanguzi nga olina essanyu olina kuba mwesimbu. Omuntu omwesimbu amanya eky’okukola ate nga kyekituufu era nakikolera mu bipimo n’ekifo ekituufu,” Mukuumaddamula Mayiga bw’ategeezezza.
Kamalabyonna Mayiga bano abawadde entanda baleme kulowooza nti omuntu okusobola okubeera n’obulamu obulungi talina kubeera munnamateeka oba omusawo oba Yinginiya naye bagaziye obwongo bwabwe basobole okuwangula kuba waliwo n’abakola ebirala nga okulima nga basinga beebegomba ennyingiza.
Abasabye okwewala okukola ensobi ku myaka emito kuba kiyinza okuzibuwala okuzitereeza naye bagumiikirize kuba buli kintu kirina ekiseera kyakyo.
Ow’omumbuga ku bugenyi buno ayaniriziddwa akulira essomero lino, Brother Augustine Mugabo namulambuza ebibiina eby’enjawulo abayizi mwebasomera amasomo naddala aga Sayaansi era nebamulaga ebimu ku bintu byebayiiya omuli ennoni, kkeeki, emmotoka ezamasanyalaze awamu n’ebirala.
Oluvannyuma lw’okubalambula, Katikkiro abeebazizza olw’obuyiiya era nabasaba bwebaba babiwa amannya babituume amannya amangu.
Akulira essomero lino Bro. Augustine Mugabo yeebazizza Katikkiro Mayiga okubeerera abaasomerako e Kitovu omumuli era namwebaza olw’okulung’amya obulungi Buganda ne Uganda.