Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Mayiga asabye Abasaakaate okwekuuma mu myaka gy’ Ekivubuka nga bafuga emibiri gyabwe wamu n’okukozesa omutwe okulowooza ku butuufu bwebyo byebabeera bagenda okukola basobole okufuna ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.
Entanda eno agiweeredde Bulemeezi ku Ssomero lya St. Janan awali Ekisaakaate kya Nnabagereka ekya Gatonnya 2025 ku Lwomukaaga bw’abadde ayogerako eri abakyetabyemu.
“Tokkiriza mu myaka gino egy’ ekivubuka, omuntu okukozesa ekintu nga kikyamu naawe nokikozesa nga olina obwongo. Byemuyize wano bibayamba okukola ekituufu nga muli mu myaka gino kubanga mwe ssuubi lye ggwanga eppya ate eddamu,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Katikkiro Mayiga alabudde Abasaakaate ku myaka gy’ ekivubuka kubanga gino gijja nekyukakyuka mu mubiri ez’obutonde ezirabikako omuli okugejja eddoboozi, abawala okugenda mu nsonga wamu n’endala naye naabasaba okwefuga n’okufuga emibiri gyabwe singa bafuna okusomoozebwa.
Ow’omumbuga agamba nti Ekisaakaate kibayamba okumanya nti wadde mubutonde basobola okufuna enkyukakyuka zino naye basaanye okukozesa emitwe gyabwe okwewala ebizibu nga Mukenenya, ebiralagalalaga kubanga omuntu mulamu asobola okwefuga era nakozesa n’omutwe gwe okulowooza.
Owek. Mayiga era alabudde Abasaakaate ku bulabe obuli mu nkozesa y’ Amasimu era baleme okugimalirako nnyo budde era basosole mwebyo byezibawa kuba ebimu bya bulabe ate sibaggyako n’okubeera nti basobola okwelowooleza.
Minisita w’Ebyenjigiriza wamu n’Embeera z’Abantu mu Bwakabaka, Owek. Cotildah Nakate Kikomeko yeebazizza Omutanda olw’okukkiriza Ekisaakaate kino okutandika era nekibangula abaana b’eggwanga ekiyambye ku lugendo lw’okuddamu okuzimba obuntubulamu.
Ye Ssaabangujuzi w’ Ekisaakaate, Owek. Rashid Lukwago ategeezezza nti abayizi bayize bingi ku mulundi guno kubanga ekifo kigazi ekimala nekisobozesa Abasaakaate okwetaaya.
Ono yeebazizza abazadde olw’okuwa abaana omukisa era naasaba Abasaakaate okukimanya nti obuntubulamu butandikira ku bbo era kwekuyimiridde eggwanga eddungi.