
Bya Stuart Jjingo
Kibuli – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannayuganda okwekwata Bulungibwansi okutumbula obuyonjo era bakendeeze n’ endwadde eziva ku bujama.
Bino byonna Katikkiro Mayiga abitadde mu bubaka obusomeddwa Oweek. Hajj Amiisi Kakomo mu muzikiti e Kibuli oluvannyuma lw’okusaala Juma eyetabiddwamu Omulangira Dr. Kasim Nakibinge, Omulangira Khalifan Lukanga ate nga Sheikh Khalifan Kiweewa y’asaazizza esswala ya Juma.
Owek Mayiga era awadde Gavumenti amagezi enkola eno etongozebwe mu Ggwanga lyonna nebitundu ebirala bigiganyulwemu.
Owek. Charles Peter Mayiga azzeemu okujjukiza abantu obukulu bwa Bulungibwansi ng’agamba nti enkola eno ebbanga lyonna ebadde nkulu nnyo mu kutumbula obuyonjo mu maka ne mu bifo eby’olukale ng’obutale, enzizi, enguudo n’ebirala.
Ono akikkaatiriza nti enkola eno esaana okuddamu okwettanira naddala olwa kaweefube Obwakabaka gwe buliko ow’okuzza Buganda ku ntikko.
Katikkiro era bwatyo akoowodde Gavumenti eyawakati okwegatta ku Bwakabaka okutumbula enkola eno, era asabye wakiri ekolebwenga emirundi ebiri (2) buli mwezi mu bibuga bya Uganda eby’enjawulo okusobola okutumbula obuyonjo n’obulamu obulungi mu bantu.