Bya Francis Ndugwa
Bulange
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye abantu bonna bafeeyo okugaba omusaayi kiyambeko okutaasa obulamu bw’abo abagwetaaga kubanga beeyongera buli kadde.

Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu Bulange Mmengo olwaleero ku Lwokubiri ng’atongoza kaweefube w’okugaba omusaayi agenda okumala ennaku nnya nnambirira.
“Tutaase obulamu ekisookerwako nga tufa kukugaba n’omusaayi ogunaatumala, bwe tunaamala okutaasa obulamu, ebirala binaatwogerwako.” Katikkiro Mayiga bw’asabye.
Katikkiro Mayiga asinzidde wano n’atongoza empenduzo (App) eya tekinologiya w’omutimbagano eyakoleddwa ekibiina ekigatta abayindi ekya Indian Association, ng’eno yaakuyamba okumanya ekika ky’omusaayi, agwetaaga n’eddwaliro w’asobola okugufuna mu bwangu.
Owek. Mayiga agambye nti obulamu ky’ebyobugagga Katonda kye yawa abantu ekisinga ebirala byonna era n’abasaba okubulabirira obulungi nga balya bulungi n’okwejjanjabya nga balwadde awamu n’okwetangira endwadde ezisoboka nga Siriimu ne Corona.
Ono agambye nti wadde bino bisobola okukolebwa naye waliwo ebintu ng’omusaayi abantu bye batalinaako buyinza ate nga bagwetaaga okusigala nga balamu nga gutambuza emmere n’ebirungo omubiri bye guba gwetaaga.
Katikkiro abasabye okuyamba abantu ababeera bagwetaaga omuli; abakyala abazaala, abagudde ku bubenje, abalwadde abalina endwadde nga Nnalubiri, Kkookolo awamu n’embeera endala ezeetaaga okuteekebwako omusaayi.
Kamalabyonna asabye ebitongole ebyenjawulo mu ggwanga okuvaayo okudduukirira kaweefube ono nga bakwatagana n’ekitongole kya Ssaabasajja Kabaka.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omukungu Kaggwa Ndagala, ategeezezza nti Obwakabaka bwegatta ku Uganda Red Cross okusobola okuziba eddibu eririwo ku bbula ly’omusaayi ate ng’abagwetaaga bangi era ng’enteekateeka eno yaakumala ennaku nnya (4).
Dr. Nazziwa Byabazaire asiimye Obwakabaka olw’okubawa omukisa mu kaseera kano aka Ssennyiga Corona kubanga abantu abagwetaaga buli kadde beeyongera ate nga teriiyo kkolero likola musaayi okuggyako okweyambisa abantu abasobola okugugaba.
Kaweefube ono awomeddwamu omutwe ab’ekitongole kya Kabaka Foundation nga bayambibwako aba Indian Association, Mengo Hospital, Uganda Blood Bank ne Uganda Red cross.









