
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu bulijjo okusoosowaza eby’obulamu byabwe era bafeeyo kwebyo ebiyamba okubawa obulamu obulungi.
Okusaba kuno Owek. Mayiga akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde akwasa abakulira eddwaliro kye Nkozi Cceeke ya bukadde 172 okuyambako okuzimba waadi awatuukira abafunye obubenje ku luguudo lwe Masaka nga zino zaava mu kijjulo kya Kaliisoliiso.
“Bassebo ne bannyabo tufeeyo ku bintu ebituyamba okutuwa obulamu obulungi kakubeere kusanyuka, leka kubeera awo nga weekapye, omwaka ne guggwako kireetera omubiri obulwadde,” Kamalabyonna Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga ategeezezza nti eby’obulamu kyekimu ku bintu abantu byebalina okusoosowaza ng’omwaka gutandika mu kifo ky’okwagala okuwasa n’okuzimba amayumba kuba kizibu omuntu okutuuka ku bino nga si mulamu bulungi.
Ono asabye abantu okufaayo ku byebalya era bakole dduyiro awamu n’okufuna akaseera akawummula mu mwaka guno ogutandise olwo bajja kusobola bulungi okufuna byebeegoba.
Owek. Mayiga agamba nti omwaka guno kyandibadde kyamagezi abasawo baleme kukaayanira musaala era baweebwe n’ebikozesebwa okusobola okutumbula eby’obulamu mu ggwanga, ensi esobole okulaakulana.
Katikkiro Mayiga era asabye gavumenti okuvaayo edduukirire eddwaliro ly’e Nkozi ku mulimu guno kuba gwakumalawo obuwumbi obuwera 7 mulamba so nga gwakuyamba abantu bonna.
Ye Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ategeezezza nti Obwakaka bwa Buganda, Ekleziya ne Rotary byonna essira byalyo biri mu kuweereza bantu awatali kusosola ku gyebava, kyebali wadde kyebali nga efunda ezitali zimu basitukiramu okutaasa embeera etuukana n’obwetaavu bw’abantu.
Kulw’ eddwaliro lye Nkozi, Msgr Charles Kasibante, yeebazizza Katikkiro Mayiga n’Obwakabaka ne Leediyo ya CBS ne Rotary olw’obuyambi obuweereddwayo okulaba nti omulimu gw’okuzimba eddwaliro lino gutambula bulungi.
Kinajjukirwa nti omulimu guno gwonna gwakumalawo obuwumbi musanvu (7) nga wakakung’aanyizibwawo obukadde obusoba mu 300.