Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bubangudde abakulembeze ab’enjawulo omuli Abaami ab’Amasaza; abakulembeze b’abavubuka; ababaka b’olukiiko; abakulembeze b’abakyala awamu n’abatwala eby’obulamu mu masaza ga Buganda gonna ku ndwadde enkambwe n’engeri gyebasobola okuzekuumamu.
Bw’abadde aggalawo omusomo guno oguyindidde mu Bulange ku Lwokutaano, Katikkiro akubirizza abantu okugoberera ennambika y’abasawo ku ndwadde zino zonna okusobola okuzivvuunuka.
Owek. Mayiga akiggumizza nti abakugu bazze balambika ku ngeri abantu gyebayinza okwetangira endwadde zino omuli; okunaaba mu ngalo obulungi; okwewala okwegwa mu bifuba; okwewa amabanga.
Abantu abasabye okwegendereza obubonero bw’endwadde zino okuli omusujja omungi, okuvaamu omusaayi mu ngeri eyeekibwatukira n’okusesema era bwebalaba bino bategeeze abakulembeze era tebageza okweziikira abantu abateeberezebwa okufa Ebola oba okulya enyama y’ebisolo by’omunsiko ebisangibwa nga bifudde.
Kamalabyonna Mayiga abantu abasabye obuteeraguza nga bafunye obubonero bw’ebirwadde bino wabula bagende mu basawo abakugu era bafeeyo ku ndwadde endala nga COVID-19 kuba nazo zikyali zamaanyi.
Ku nsonga y’obusambatukko mu maka, Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti buno okusinga busibuka ku bwavu nasaba abafumbo bawangane ekitiibwa mu maka n’abaami bakomye okukuba abakyala naye bulijjo bateese era banyweze obuntubulamu
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Buganda etegese ebyooto ku mbuga z’eggombolola okubangula abantu ku ndwadde ezo n’obulabe obuli mu butabanguko mu maka.
Omusomo guno gwaguddwawo, Minisita w’Olukiiko, Amawulire, Abagenyi, era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Noah Kiyimba n’akubirizza abantu okwewala obuligo n’obujama kuba kizuuse nti byebivaako endwadde ezisinga obungi.
Owek. Kiyimba akiggumizza nti eby’obulamu bikulu nnyo mu kuzimba eggwanga, kubanga omulamu y’asobola okukola n’azimba eggwanga, so ng’ate n’eddembe ly’obulamu teriyinza kutambula bulungi nga waliwo endwadde ezitawanya abantu ng’Ebola ne Mukenenya.
Yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’amaanyi g’atadde mu nteekateeka zonna ez’okutumbula eby’obulamu.
Oluvannyuma abeetabye mu musomo guno babanguddwa, Dr. Fiona Kalinda era asabye abakulembeze bw’Obwakabaka okunnyikiza okusomesa abantu ku ndwadde ezo, bakubirize abantu okukuuma obuyonjo, okugoberera ennambika y’abakugu ku ndwadde zino.
Dr. Kalinda asabye abakulembeze okuwa abantu essuubi kuba obulwadde buno busobola okuwona singa abantu bagenda mu malwaliro.