
Bya Samuel Stuart Jjingo
Gayaza – Nakwero
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye amatendekero ag’obwanannyini okwongera okuterawo omukisa abayizi abatalina busobozi nabo basomereko mu matendekero gabwe nga babaawa sikaala oba okubakenderezaako ku nsimbi ensaamusaamu.
Bino Owek. Mayiga abuwadde mu bubaka bwatisse Minisita w’Ekulakulaana y’Abantu era avunaanyizibwa ku woofiisi ya Maama Nnaabagereka Oweek. Cotilda Nakate bwabadde aggulawo Ssetendekero ya Ahaki Afya na Haki mu butongole e Gayaza Nakwero ku Lwokuna.

Owek. Mayiga agamba nti abaana bangi abava mu maka agatalina mwasirizi abagala okweyongera nemisomo gyabwe naye nga tebalina busobozi bwatyo nasaba bannanyini matendekero g’obwananyini okwegata ku kaweefube wa Ssaabasajja Kabaka ow’okukwasizaako abayizzi banno.
Ono asabye bannansi abafunye ku ssente okuteekawo ebintu eby’enkulakulaana mu bitundu byabwe bitutumuke era bizineensi zikule.
Omutandisi w’ettendekero lino, Moses Mulumba gamba wabaddewo obwetaavu bwamanyi obw’okubangula abayivu mu ngeri y’Omufirika gyakuzibwaamu.
Omukolo guno gwetabiddwako Omukiise wa Netherlands mu Uganda H.E. Frederieke Quispel era nga awabudde abazadde ba Uganda okwongera amanyi mu kuwerera abaana babwe.
