
Bya Gerald Mulindwa
Kampala – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye ba Ssenkulu be bitongole by’obwakabaka n’abasaba okutereeza entambuza y’emirimu bweba Baagala okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Abategeezezza nti omwaka guno essira wa kulissa ku kulaba nga amakampuni gatambulira ku nkola ennungamu ey’amateeka omuli okulaga ennyingiza n’ensasaanya, okuwa aboomusolo ebitabo, n’okugoberera alipoota za bboodi.
Owek. Mayiga agamba nti tewali kampuni ekula nga eby’emisolo tebitwalibwa nga kikulu, era nokufuna emirimu gya Gavumenti oteekwa okuba nga owa omusolo nga bwegugerekebwa ekitongole kya Uganda Revenue Authority.
Era abakubirizza okuwandiisa kampuni mu kitongole kya Uganda registration services beaural, kampuni zimanyike zongere okuteekebwa ku mwanjo.
Mu ngeri yeemu abasabye okutunuulira e nnyo ensonga z’abakozi, engeri gyebayingiramu n’okufuluma e kitongole, okulondoola empeereza zaabwe, nokumanya kiki kye bagatta ku kampuni, era bbo nha ba Ssenkulu bayambe abakozi okujjayo obusobozi bwabwe, okubayambako okubangulwa mu misomo egy’ensonga, n’okubawabula wekyetaagisiza.

Akulira olukiiko lwa ba Ssenkulu, Omuk. Ssebuufu Roland, , alaze nga bwe bakyatambulira ku kulambika kwe okusimbye mu nnyingo y’okuzimba obwa sseruganda n’okuwagiragana mu buweereza, akinogaanyizza nti basenvuddeko era gye balaga balabayo.
Eno ye nsisinkano ya ba ssenkulu egguddewo omwaka guno 2025, era yetabiddwamu Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke.
