Bya Ssemakula John
Kampala
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, akuutidde abavubuka abaakayingira obufumbo okubeera abatetenkanya nga banoonya ebisanyusa bannaabwe bwe baba baakuwangalira mu ssanyu.
Katikkiro asibiridde abagole entanda ey’okuwang’ana ekitiibwa olwo lwe bajja okumalako. Agambye nti obugagga, n’okulabika obulungi si kye kikola obufumbo, wabula okwewa ekitiibwa.
“Ekigendererwa ky’okutandika kkampuni kubeera kukola magoba naye okutuuka ku kino buli kye bakola balina okukiteekamu amaanyi, naye obufumbo nabwo butunuulira ekintu kimu ng’amagoba nga ly’essanyu mu maka. Naye okufuna kino mulina okuteekayo obudde okubeera abagumiikiriza, okutegeeragana wamu n’okwewa ekitiibwa okusobola okufuna amagoba ago.” Mayiga bw’annyonnyodde.
Abasabye okukimanya nti obulungi si bwe bukola obufumbo wadde bakyali bato era nga babalagavu naye bafube kimu kwetegeera kuba ke bubeere obugagga, tebusobola kukuuma bufumbo naye singa baneerekereza ne bawang’ana ebitiibwa, bajja kusobola okubeera mu ssanyu era bawangaale.
Bino abyogeredde Munyonyo -Minor Basilica ku mukolo gw’okugatta Nicholas Peter Kakooza Katongole nga mutabani wa Emmanuel Katongole owa Quality Chemicals ne Ssanyu Gloria Kiyimba Kisaka ng’ono muwala wa Ssenkulu wa KCCA, Dorothy Kisaka ku Lwokutaano.
Omusumba w’e Lugazi, Rt. Rev. Christopher Kakooza akubirizza abaagalana bano okukulembeza obwesigwa mu mukwano gwabwe basobole okunyumirwa ekirabo ky’obufumbo.
Ate ye Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Steven Kaziimba Mugalu, abafumbo bano abakuutidde okutwala ekyokulabirako ekirungi ekyabafumbo be balaba, kibawe obuvumu obweyagalira mu ky’amagero ky’amaka.
Omukolo guno gwetabiddwako n’akuuma essaza ekkulu ery’e Kampala era Omusumba w’e Kasana- Luwero, Bishop Paul Ssemwogerere abaagalana bano abakubirizza okutambuliza obufumbo bwabwe ku nnono y’Obwakatonda.