Bya Gerald Mulindwa
Masengere – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abakozi mukitongole ki Buganda Land Board (BLB) okukwata obulungi abantu abajja gyebali nga baagala obuweereza obwenjawulo era bafube okukolera emirimu mu bwerufu.
Obubaka buno, Owek. Mayiga abuweeredde ku Masengere e Mmengo bw’abadde mu nteekateeka y’okulambula ekitebe ky’ ekitongole ki BLB ku Lwokusatu.
Mukuumaddamula asoose kusisinkana bboodi n’abakulira entambuza y’emirimu mu kitongole kino nga bakuliddwamu Ssenkulu Simon Kabogoza, oluvannyuma n’asisinkana abakozi bonna era n’ayogerako gyebali.
Mukwogera, Katikkiro Mayiga abasabye bakolere mu kwagala era bawe obuweereza obulungi eri abantu basobole okwongera okufuna obwesige.
Owek. Mayiga era akuutidde abakozi abali mu matabi ag’enjawulo bakwate bulungi abantu, ba baanukule nga waliwo ensonga gyebaagala okumanya, bakomye okwemulugunya kubanga eyo y’ensonga eyateesaawo amatabi mu bitundu ga gonjoole ensonga eziteetaagisa bantu kujja ku Masengere.
Abakozi abasabye bamanyigane n’abakozi b’e bitongole by’Obwakabaka abalala, era bakuume ekitiibwa ky’obwakabaka baleme kweyisa nga ba ddikuula, bakolere wamu kuba buli omu wa mugaso eri munne.
Bbo abantu Kamalabyonna abakubirizza okujjumbira enteekateeka y’okwewandiisa ku ttaka bawone okugobwa entakera. Bagende bafune liizi, ab’obusuulu basasule era basseewo enkolagana ne nannyini ttaka.
Ono era ayozaayozezza ekitongole kino okuweza emyaka 30 bukya kitandikibwawo n’asaba abakozi okukola n’obuyiiya, obunyiikivu, obwerufu, nokwagala okukitwala mu maaso.
Katikkiro Mayiga bano era abalaze obukulu bw’ettaka eri Buganda kubanga lya nkizo mu nnono za Buganda kubanga obutaka bw’Ebika buli ku butaka ekika gyekisinziira okumaakuma bazzukulu baakyo, n’olwekyo omulimu aba Buganda Land Board gwebaliko mukulu nnyo.
Ye Minisita w’Ettaka n’Ebizimbe, Owek. Daudi Mpanga asabye abakozi okunyiriza ekifaananyi n’endabika y’ekitongole ne wankubadde waliyo ebisomooza naye kibeere gyebali okutwala obuvunaanyizibwa okwanganga omuntu yenna akola ebintu ebyonoona erinnya ly’ ekitongole.
Mu kulambula kuno Minisita w’Olukiiko Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba, Owek. Ritah Namyalo mmemba wa bboodi awamu n’abakungu abalala.