Bya Shafik Miiro
Makindye – Kyaddondo
Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga agenyiwaddeko mu maka g’Omutaka Ndugwa Ssemakula Grace e Kibuye mu ggombolola Makindye Mut. III mu Kyaddondo.
Owek. Mayiga atenderezza Omutaka Ssemakula Grace olw’emirimu egy’enjawulo gy’akoledde Ekika kye ate n’Obuganda bwonna naddala mu kiseera eky’okuzaawo Obwakabaka ng’agamba nti ono y’omu ku bantu abasisinkana mu nteeseganya z’okuzzaawo Obwakabaka n’okuzza ebintu bya Buganda eby’enjawulo.
“Omutaka Ndugwa ono, akoze omulimu munene nnyo, era yenna amannyi ebyafaayo by’omulembe Omutebi talema kumanya Omutaka Grace Ssemakula by’akoze okulaba nti Obwakabaka buddawo, era tewali ayinza kwerabira mulimu ogwakolebwa olupapula lwa Ngabo ne Star, Ngabo ye yasooka okuwandiika nga 15/08/1986 nti Omulangira Mutebi amomyewo, gwe gwali omutwe omukulu mu Ngabo era ne kaweefube ow’okuzzaawo Obwakabaka yafulumira nnyo mu Ngabo ate ng’omutwe omukulu mu lupapula olwo yali Omutaka Grace Ssemakula” Katikkiro Mayiga.
Owek. Mayiga yebazizza nnyo abantu abalabira Omutaka ono mu kiseera kino ky’amaze ng’atawanyizibwa obulwadde era yebazizza ne Katonda olw’ekirabo ky’obulamu ky’amuwadde.
Omutaka Ndugwa Ssemakula Grace mu bubaka bwe obusomeddwa Owek. Jones Kyazze yebazizza Katikkiro Mayiga olw’okukulembera obulungi Obuganda, okutumbula obulimu bw’emmwanyi n’engeri gy’akutemu ensonga z’obulamu bwa Ssaabasajja, Ono era asiimye nnyo Kamalabyonna olw’okumufisizza obudde n’amukyalirako.
Katikkiro ku bugenyi buno awerekeddwako Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala, nga naye asinzidde wano ne yebaza Katonda akuumye Omutaka Grace Ssemakula era atenderezza Omutaka olwa byonna by’akolera Ekika kye n’Obuganda. Ono ategeezeza nti Ekika ky’Olugave by’ebimu ku bika by’alambudde mu nteekateeka y’okuzza omugundu mu Bika omwaka guno.