
Bya Francis Ndugwa
Kabembe – Kyaggwe
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga olwa leero ku Lwokutaano alambudde Abasaakaate ab’enjawulo abali ssomero lya Muzza High School e Mukono mukubangulwa nabasaba okunyweza ebyo byebayize.
Katikkiro Mayiga alambuziddwa, omutandisi w’essomero lino, Omuk. Wilson Mukiibi Muzzanganda, Abaami ba Kabaka awamu n’abagunjuzi.
“Omulimu ogusinga okubeera omukulu mu ggwanga gwa kugunjula emiti emito olwo nekuddako obujjanjabi ebirala nebigoberera. N’olwekyo abatandisi b’amasomero n’abagaddukanya balina okwebazibwa olw’okugunjula abaana b’ eggwanga.”

“Nneebaza abagunjuzi abasomesezza abaana baffe ebintu ebyenjawulo byebabadde tebamanyi kubanga bino bijja kubayamba mu bulamu bwabwe bwebanaaba beeyongera okukula nga babuvunaanyizibwa, awamu n’empisa ennungi,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Mungeri yeemu Katikkiro yeebazizza Abasaakaate abakoze obulungi era nabasaba okunyweza ebyo byebayize omulimu okulunda, okukola ebintu ebyenjawulo awamu n’obuntubulamu.
Yeebazizza nnyo abatandisi b’amasomero olw’omulimu gwe bakola okugunjula emiti emito.

Omukungu Muzzanganda yeebazizza Nnaabagereka olw’enteekateeka eno nakakasa nti egenda kukola kinene ku kukyuusa ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso.
Omu ku bagunjuzi, Ssempa Mathew agamba nti abaana bano babadde batemeddwatemeddwamu ebibinja 18 nga buli kimu kituumiddwa erinnya ly’ essaza era n’omukulembeze w’ekibinja afuna ekitiibwa ky’omwami w’essaza era kyebasinze okusaako essira z’empagi z’obuntu bulamu.

Mu nteekateeka yonna ey’okuvuganya okuva mu Masaza 18 wakati w’abayizi abeetabye mu nteekateeka y’omwaka guno ziwanguddwa essaza Busiro oluvannyuma lw’okukung’aanya obubonero obungi mukuvuganya ku nsonga ez’enjawulo.
Omu ku basaakaate, Nakabugo Francisca, agamba nti yajja tamanyi kuwata, okulima wadde okuyimba Ekitiibwa kya Buganda bwatyo neyeebaza Maama Nnaabagereka olw’okubawa omukisa.









