
Bya Francis Ndugwa
Kituuza – Kyaggwe
Katikkiro Charles Peter Mayiga alambudde abanoonyereza ku kirime ky’Emmwaanyi aba National Coffee Research Institute (NACORI) e kituuza Mukono okulaba engeri gyebasobola okweyambisa Saayansi ne Tekinologiya okuganyula abalimi.
Ku bugenyi buno, Kamalabyonna awerekeddwako Owek. Hajji Amisi Kakomo, Owek. Israel Kazibwe n’abakungu okuva mu kitongole kya BUCADEF.
Katikkiro Mayiga abadde nti bagenderedde okulaba engeri gyebakenenula ebirungo ebyenjawulo okuva mu mmwanyi n’okunoonyereza kwebakola ku bika by’emmwanyi ebyenjawulo okwongera okuzitumbula.
Owek. Mayiga agamba nti emabegako abantu babadde tebamanyi bulungi mulimu gwebayinza kukola nebagunywererako wadde abantu baali balima Vanilla nebirala naye bwebatyo baasalawo okukomyawo obulimu bw’emmwaanyi nga bayita mu nteekateeka y’ Emmwaanyi Terimba eyatandikibwa mu 2016.
Kamalabyonna Mayiga naye kino okutuukirira abalimi baba balina okufuna mu mmwaanyi era kino kisoboka basimba ebika ebisobola okulwanyisa obuwuka, okugumira ekyeeya, okusimba ebika by’emmwaanyi ebigendera ku bika by’ebyettaka nga Arabica bwali e Bugisu.

Ono akuutidde abalimi okumanya ennima entuufu okusobola okufuna ekisingira ddala mu mmwaanyi okuviira ddala ku kusimba okutuuka ku makungula.
Mukuumaddamula Mayiga annyonnyodde nti okugattako omutindo nakyo kintu kikulu ekisobozesa omulimi okufuna mu maanyi ge kuba kizuuse nga bingi ebisobola okuva mu mmwaanyi omuli ebizigo, eby’okwewunda n’okulongoosa emibiri naye nga bino byonna byetaagisa bannasayansi abasobola okunoonyereza nebawa amagezi ku kirina okukolebwa.
Ate Minisita w’Ebyamawulire n’Okukunga Abantu mu Buganda, Owek. Israel Kazibwe Kitooke asabye abalimi okufaayo ku ndabika yabwe kisobozese omulimu guno okugwagazisa abantu abalala era baguwe n’ekitiibwa.
Ye akulira NACORI, Dr. Arinaitwe Geoffrey agamba nti ekirime ky’emmwaanyi kitegeeza kinene mu ggwanga era tosobola kwogera ku mmwaanyi notayogera ku maanyi Bwakabaka bwa Buganda gebwateekamu okulaba nti ekirime kino kitumbulwa.
Dr. Arinaitwe agasseeko nti enteekateeka ya Buganda ey’Emmwaanyi Terimba bakwongera okugiwagira nga NACORI nga beesigama ku ndowooza n’embeera za bannansi n’amagezi ga Tekinologiya ageetagibwa abalima ekirime kino.

Ono alaze nga mukunoonyereza bwebasobodde okukola ebizigo, obuwoowo, butto, n’ebintu ebirala nga bino byonna bisobola okuyamba okutandika amakolero n’okugakulaakulanya eggwanga n’okuwagira omulimi.
Dr. Arinaitwe annyonnyodde nti ekizibu ky’amawanga g’Afirika bwe bwavu, endwadde n’obutamanya naye nga bino byonna bisobola okulwanyisibwa singa omuntu alima ekirime kino.