• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga akuutidde Obuganda ku bumu, agamba wadde waliwo ababutawaanya naye tebasobola kubuwangula

Gambuuze by Gambuuze
July 31, 2024
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro Mayiga akuutidde Obuganda ku bumu, agamba wadde waliwo ababutawaanya naye tebasobola kubuwangula
0
SHARES
40
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Namirembe – Kyaddondo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akuutidde Obuganda okunyweza obumu era balabuukirire abo bonna abaagala okunafuya Nnamulondo  olwo bavvuunuke ebisomoozo era basobole okuzza Buganda ku ntikko.

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku Lutikko ya St. Paul’s Cathedral e Namirembe ku Lwokusatu mu kusaba kw’okujjukira bwegize emyaka 31 nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ali ku Nnamulondo alamula abantu be.

Owek. Mayiga agamba nti  wadde Obuganda bulina ennyonta okulaba ku mutanda naye abantu basaanye okubeera abgumiikiriza n’okusoosowaza ensonga z’obulamu bwe nga bagoberera ebiragiro by’ abasawo  era ajja kulabikira ku mikolo mu bwangu ddala nga ateredde.

Mayiga annyonnyodde nti mu myaka 31 gino mu baddemu okusomoozebwa okuviira ddala ku ku kuzzaawo Obwakabaka, okubanja Federo n’ebyaffe nga okutematema mu Buganda kijja kwongera okubunafuya n’okuvaamu ebizibu.

Owek. Mayiga ategeezezza nti walabiseewo abantu abaleeta enjatika mu Buganda n’okutyoboola ekitiibwa kyaayo naye ekyaddisaawo Obwakabaka n’okuvvunuka ebisomoozo bubadde bumu naasaba abantu okusigala obumu kuba mu ngeri eno mwebasobola okuyita okuwangula byonna ebibulumba.

Ono alaze obukulu bw’obumu mu Bwakabaka nakakasa nti okusobola okulaga kino Ebika byonna byakolebwa nga  byenkanankana  ssi nsonga kigwa mu Binnansangwa oba nedda wadde nga bino byawukanya  obuvunaanyizibwa n’emirimu embuga.

Owek. Mayiga akoowodde Obuganda okutunula enkaliriza bulabuukirire abaagala okubatematemamu nga baagala okubanafuya era bumanye nti wadde  wasobola okubaawo abayinza okututawaanya naye tebusobola kubuwangula.

Asabye abaganda okunyweza obumu era bafube okulaba nti buli kyebakola kyongera okugatta  Buganda wakati nga baawula amabala mu myaka n’ekikula, endowooza z’ebyobufuzi oba eddiini naye basse ekitiibwa mu mbeera z’abantu abalala olwo Buganda edde ku ntikko.

Katikkiro Mayiga yeebazizza omulabirizi olw’obubaka wamu n’Amakula ga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.

Mu ngeri yeemu yeebazizza bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo olw’okujja okubeerawo ku mukolo guno.

Owek. Mayiga yeebazizza abantu ab’enjawulo abayambye mu nteeketeeka y’okujjukira Amatikkira gano wansi w’omulamwa ogugamba nti, ‘Obumu bwaffe gemaanyi ga Nnamulondo.’

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist