
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akuutidde abayizi abasoma amateeka okuva ku ssetendekero wa Gulu University, okukozesa obulungi omukisa gwebalina ogw’okusoma basobole okukyusa obulamu bwabwe n’ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Entanda eno, Owek. Mayiga agibawadde bw’abadde abasisinkanye ku Lwokubiri e Bulange e Mmengo nabakuutira okukozesa obulungi emyaka gyabwe egy’ ekivubuka basobole okuwangula.
Owek. Mayiga abannyonnyodde nti amateeka gakwata ku buli muntu era nabuli mulimu nabasaba okugagoberera obulungi okusobola okuzimba eggwanga.
Bano abasabye okubeera abayiiya abanyikivu era bakole n’okwagala bwebaba nga bakuyitimuka mu mulimu gw’obwamateeka .
Ye Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika atendereza omulimu omunene ogukolebwa Ssettendekero wa Gulu mu kubangula abaana b’eggwanga.
Owek. Bwanika bwatyo asiimye Dr Shadiks Mutyaba Ssemakula gweyakola mu kutandikawo essomo ly’ amateeka ku ssetendekero wa Gulu university. Ono era akuutidde okubeera abakozi singa babeera baweereddwa omukisa.
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Sserwanga yeebaziiza abayizi bano olwokujja era nasaba kano okubeera akabonero eri bannabwe e Gulu namatendekero amalala okugenyiwalako embuga.
Eyakuliddemu abayizi bano, Miriam Nampeera yeebaziiza Katikkiro olw’okubakyalirako gyebuvuddeko ku ssettendekero wabwe, era namusiima olwokubeera mugatta bantu era omukozi afuuse eky’okulabirako ekyamanyi okwetoloola eggwanga lyonna.
Abayizi bano era baliko emijoozi gyebaguze okuwagira enteekateeka y’Emisinde gy’Amazaalibwa ga Beene ku Ssande eno nga 7 mu Lubiri e Mmengo.