Bya Francis Ndugwa
Butooro – Mawokota
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu bulijjo okulondoola emirimu nebyo ebibeera bikolebwa bwebaba baagala okubifunamu bongere okulaakulana kuba emirimu mingi gizing’amye lwekyo.
Okwogera bino Katikkiro abadde alambula emirimu gy’emmerezo z’emmwaanyi wegituuse ku mbuga ye ssaza e Butooro mu Mawokota ku Lwokubiri.
“Akabaate akali mu nsi ezikyakula naddala mu Afirika kwekuba nti emirimu egikolebwa egy’olukale mingi gikolebwa naye gifa olwokulemwa okugirondoola,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Wano Owek. Mayiga asimbuliza endokwa ng’akabonero akalaga nti zituuse okusimbibwa mu nnimiro nakubiriza abantu okuzirima mu bungi,
Owek. Mayiga agamba nti ekizibu ky’okulondoola emirimu kyekimu ku biremesa abantu okubiggyamu ekirungi.
Ono asabye bannaddiini n’abakulembeze abalala okuyambako okunnyikiza enteekateeka y’okulima emmwaanyi n’okuva mu bwavu olwo Buganda esobole okuyitimuka.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti ku mulembe Omutebi bakolera mu buzibu kuba ensimbi nebikola balina bitono ddala naye wadde kiri kityo balina okunnyikiza nokulondoola ebyo ebikoleddwa okukyuusa embeera eno.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, ebintu byakyuuka okuva kwebyo ebyaliwo ku Miteesa nga kati buli kikolebwa kirina okuteekebwako, omwoyo n’emmeeme okusobola okubiggyamu ebibala.
“Emmerezo zino twazisaawo tusobole okuba nendokwa entuufu abantu basobole okuganyulwa nga bafuna emmwaanyi z’empeke ennene awamu ne kkaawa ow’eddekedde,” Owek. Mayiga bw’agasseeko.
Ono asabye ab’ Amasaza okulabirira obulungi emmerezo zonna ezasimbibwa kiyambe okufunira abeetegese endokwa entuufu era nabazifuna nabasaba okuzirabirira obulungi okusobola okukuuma omutindo nga bazifukirira mu kyeeya, okunoga ezengedde awamu n’obutazaanika mu ttaka.
Ye minisita w’ebyobulimi mu Buganda, Owek. Mariam Nasejje Nkalubo yeebazizza Kayima n’olukiiiko lwe olw’okulabirira obulungi emmwaanyi zino n’okukuuma embuga y’essaza lino nga eweesa Obuganda ekitiibwa.
Mu kulambula kwa leero, Katikkiro awerekeddwako minisita webyamawulire era omwogezi wa buganda Owek. Noah Kiyimba, Minisita owebyobulimi nobulunzi Owek. Mariam Mayanja Nkalubo n’omubeezi we Owek. Hajji Amis Kakomo wamu n’abakungu abalala.
Kinajjukirwa nti enteekateeka y’ emmerezo eno yatandikibwa mu masaza musanvu okuli; Butambala, Gomba, Kyaggwe, Busiro, Busujju, Buddu ne Mawokota nga wegenda okuva okusaasaanira amalala.