• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga  akunze Bannabulemeezi okulima emmwaanyi, aggaddewo ekitundu ky’Emmwaanyi Terimba A

Gambuuze by Gambuuze
June 21, 2022
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga  akunze Bannabulemeezi okulima emmwaanyi, aggaddewo ekitundu ky’Emmwaanyi Terimba A
0
SHARES
46
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Ssemuto – Bulemeezi

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alambudde abalimi b’Emmwaanyi abasukkulumye  mu ssaza Bulemeezi era nasaba n’abantu abalala okubalabirako bazirime bwebaba baagala okuwona obwavu n’okwekulaakulanya.

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde alambula abalimi ab’enjawulo wansi w’enteekateeka y’Emmwaanyi Terimba neyeebaza Palamenti olw’okusimbira endagaano y’ Emmwaanyi ekkuuli.

“Omuganda agamba nti Obulangira bw’omukopi  kwekolera era singa Ssebitosi tabadde mukozi ne mukyala we wano sandizeewo. Twetubadde ewa Mwami Ssemyaano ow’ E mmamba bagambye nti ebiseera by’okwekubagiza byaggwako. Ndabye abantu bangi abava e Bulemeezi abeekubagiza nga bajjukira olutalo naye buli aneekubagiza talisomesa baana wadde okwekulaakulanya,” Owek. Mayiga bw’agambye.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga obulimi  bwebugenda okutuusa ku bannayuganda ku mutendera oguddako era akikakasa nti obulimi busobola okubatwala mu makolero awamu ne Saayansi ne Tekinologiya nga bwegwali e South Korea.

Owek. Mayiga asabye abazadde okusomesa abaana awatali kwawula mu ddiini  kuba essuubi lya Buganda liri mu baana era bafube okubeera abakozi era abatetenkanya okusobola okutwala Buganda mu maaso.

Ono abalabudde okukomya okuyimba ebibasomooza era bafube okuliikiriza ennimiro zabwe nga bakozesa ente ne Nnakavundira bwebaba baagala okugatta kwebyo byebafuna era nasaba abalimi okugabana amagezi kuba amagezi muliro.

Mu kulambula kuno, Katikkiro Mayiga  asookedde wa Mw. Ssemyano Timothy ku kyalo Magere e Semuto gy’alambulidde  yiika ezisoba mu 9 ez’emmwaanyi. Oluvannyuma yeyongeddeyo e Nnyanja mu ggombolola ye Ssemuto ewa Mw. Adam Ssebitosi nga naye alima emmwaanyi mu bungi era namulaga watuuse.

Minisita w’ebyobulimi, obulunzi obwegassi era avunaanyizibwa ku Butondebwensi mu Buganda, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, akubirizza abantu okusoosowaza Obutondebwensi olwo bajja kusobola okulima awatali kwelarikirira kuba enkuba bajja kuba bagifuna mu budde.

Ye omubaka omukyala owa Nakaseke, Sarah Najjuma yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okugezaako okuyiiyiza Buganda enteekateeka ez’enjawulo ezikulaakulanya abantu ba Buganda okusobola okubaggya mu bwavu era nakunga abalimi okunywerera ku Mmwaanyi.

Omu ku balimi Adam Ssebitosi ategeezezza nti ekimu ku kyasinga okumukwatako bwe bubaka bweyawa nga agamba nti obugagga ntuuyo  era namwebaza olw’enteekateeka ez’enjawulo okutumbula embeera z’abantu mu Buganda.

Mu kulambula kuno Katikkiro Mayiga abadde awerekeddwako Omulangira Daudi Chwa, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, Minisita Hamis Kakomo, Owek. Noah Kiyimba n’abakungu ab’enjawulo.

Share this:

Tags: BulemeeziEmmwaanyi TerimbaKatikkiro Charles Peter MayigaMinisita Hamis Kakomomulangira Daud ChwaOwek. Mariam Mayanja NkaluboOwek. Noah Kiyimba
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.