Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Munnabuddu, Katikkiro Charles Peter Mayiga aweze okufutiza Kyaggwe mu gw’akamalirizo e Namboole olw’omukaaga luno era bwatyo nakunga Bannabuddu okuggwaayo .
Kamalabyonna asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku Bulange enkya ya leero ku Mmande n’ategeeza nti buli asomoka Lwera ajja n’ekigendererwa eky’okubaako byatwala okubizza e Buddu omuli n’ebikopo by’Amasaza.
Owek. Mayiga wano akoowodde ab’e Ggombolola mwazaalibwa Ssaabawaali Bukoto, Kyanamukaaka, Kkingo, Katwe Butego, Bukulula, beeyiwe e Namboole bajulire ebigambo byayogedde olwa leero nga Buddu esitukira mu kikopo ky’omupiira gw’Amasaza eky’omwaka 2024.
Mu buufu bwe bumu akunze abe Kyaddondo ne Buweekula baggye bawagire Amasaza gaabwe nga galwanira ekifo ekyokusatu.
Mukuumaddamula skubirizza abantu okutambula nobwegendereza, beewale okuvugibwa omugoba anywedde omwenge, obutatuula waggulu ku butanda bw’e motoka kubanga Kabaka ayagala babeere balamu, beewale efujjo n’ebigambo ebiwemula, naye okusanyuka kwo kubeerewo mu kukuba Engoma, amazina, Vuvuzela, n’emirere.
Kulwa BannaKyaggwe, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, agambye nti kizibu okuwangula Kyaggwe olw’amannya g’ebyalo agaliyo, omuli; Namakomo, Ndwaddemutwe, Nywedde malwa, Nekooyedde, era nga bwebali abakunja Buddu baakujikunja bagitwaleko e kikopo. Ategeezezza nti baakolaganye ne Uganda Railway okutambuza buli munna Kyaggwe alina tikiti y’omupiira ku bwereere.
Omupiira ogw’akamalirizo gwa lwamukaaga luno nga 2 Museenene e Namboole.
Olukung’aana luno lwetabiddwamu munna Kyaggwe era omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke n’ Omuk. Nantege Josephine,