Bya Gerald Mulindwa
Mawokota
Katikkiro Charles Peter Mayiga akunze abantu mu Buganda ne Uganda okujjumbira okulima emmwanyi n’okulunda, basobole okwegobako obwavu nga Ssaabasajja Kabaka bwe yalagira era bakomye okulinda gavumenti okubayamba.
Bino Owek. Mayiga abyogedde akomekkereza enteekateeka ye Emmwanyi Terimba ey’omwaka 2020 ku mbuga ya Ssaabawaali Nkozi mu Mawokota, mw’alabulidde abalimi abaganyuddwa mu nteekateeka.
“Wadde nga tutunuulira abakulembeze okututemera empenda ez’okwezimba, musaana mukimanye nti obwavu lwoya lwa mu nnyindo era okwegobako obwavu tekyesigamye ku gavumenti eriko oba okufuna gavumenti empya n’akatono, okwegobako obwavu kyesigamye ku muntu ssekinnoomu.” Mayiga bw’ategeezezza
Owek. Mayiga asabye abantu okukomya okulinda gavumenti okubayamba naye basitukiremu kubanga obuvunaanyizibwa bw’Omukulembeze kubeera kutema mpenda n’okukwatizaako abantu abeetegese okusobola okwerwanako era ng’enteekateeka ye Emmwanyi Terimba egenderera okulaba nga bawa omukisa abantu okwerwanako.
Ono asabye abantu mu buli kimu okukubiriza bannaabwe okukola era bettanire ekirime ky’emmwanyi nga balabira ku abo abalambuddwa era babayigireko bakyuse obulamu bwabwe.
Ku bannabyabufuzi abanoonya akalulu, Mayiga bannamawokota abasabye okulonda abo abategeera ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano, Obwakabaka kwe buyimiridde era balonde abo abanaayamba okulwanirira enfuga ya Federo, Buganda esobole okukola ku nsonga z’abantu baayo.
“Tulonde abakulembeze abanaategeera Emmwanyi Terimba, nze ndowooza nti omukulembeze atategeera nsonga za Buganda Ssemasonga ettaano, talina kyanaatugasa. Sijja bagamba nti mulonde gundi oba gundi, nze mbabuulidde we tusimbye.” Mayiga bw’alambuludde.
Katikkiro Mayiga asiimye bannamikago aba Uganda Coffee Development Authority era n’asuubiza okwongera okukolagana nabo, okusobola okulaba ng’abantu ba Kabaka bagoba obwavu mu maka gaabwe.
Ate ye Minisita w’ebyobulimi mu Buganda, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, ategeezezza nti omulimu guno gutambudde bulungi era n’asiima abalimi abavuddeyo okuteeka ekiragiro kya Kabaka mu nkola.
Owek. Mayanja agambye nti ku Mmwanyi bagasseeko ebirime ebirala ng’amatooke, emiti ne muwogo era n’abasaba okujjumbira ebibiina by’obwegassi, basobole okwekulaakulanya nga bakuuma omutindo n’okunoonya obutale.
Omwami w’essaza ly’e Mawokota, Gabriel Kabonge, asiimye Katikkiro Mayiga olw’enteekateeka eno era n’awera nti kituufu emmwanyi Terimba era ng’abantu bajja kusobola okweggya mu bwavu.
Mu balimi b’alambudde kuliko; Micheal Yombo ow’e Bukemba, Lubega Ponsiano Nabutono ow’e Buseesi Kituntu, Arthur Jagenda Magulu ow’e Nundu mu ggombolola y’e Nkozi.