• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga akunze abantu balime emmwaanyi baleme kwekwasa bisomooza

Gambuuze by Gambuuze
October 10, 2022
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga akunze abantu balime emmwaanyi baleme kwekwasa bisomooza
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Ssese

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akunze bannayuganda yonna gyebali bulijjo okulima emmwaanyi beewale okwekwasa kuba buli mulimu gulina ebigusomooza.

Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde ayogerako eri bannamawulire nga ayolekera ebizinga bye Ssese ku nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba ku Mmande okulambula abalimi ba Beene.

“Mbakubiriza balime wadde waliwo abagamba nti tebalina ttaka ekyo kituufu naye era bwogamba omuntu nti suubula waliwo akugamba nti sirina ntandikwa.  N’omuyigirize ajja kugamba nti emirimu tegirabika, ekyo kireme kuba nti kye kyekwaso kyetukulembeza,” Owek. Mayiga bw’agambye.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga wadde abantu beeno baagala nnyo okulima ebinazi naye akaseera katuuse balowooze ku kulima emmwaanyi.

Katikkiro waakulambula abalimi mu Ggombolola ssatu okuli Mugoye, Bujjumba, Mutuba II Kalangala era nga wadde ataalaze Amasaza ga Buganda ag’enjawulo abadde tatuukangako Ssese.

Mu kulambula kuno, Owek. Mayiga awerekeddwako baminisita okuli avunaanyizibwa obutereevu ku byobulimi Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Nassejje,  Owek. Noah Kiyimba, minisita wamawulire  era omwogezi wa Buganda ne Minisita w’ Abavubuka, Owek. Henry Kiberu Ssekabembe.

Bino webijjidde nga ekitongole ekivunaanyizibwa ku Mmwaanyi mu ggwanga Ki Uganda Coffee Development Authority  kyakamala okusiima Obwakabaka, Katikkiro Mayiga awamu ne BUCADEF olw’okutumbula ekirime ky’ Emmwaanyi.

Ku ssaawa kkumi Mukuumaddamula abadde atuuse ku mwalo gwe Bukakata era ayaniriziddwa John Baptist Lubega akulira entabuza yemirimu ku kidyeri kya MV ssese era kirutwalidde eddakiika asatu okutuuka ku mwalo gwa Luku-Bugoma.

Ku mwalo gwe Bugoma Katikkiro ayaniriziddwa Minisita omubeezi owebyobulimi avunanyizibwa obutereevu ku Mmwaanyi, Omwami w’essaza lino,  Kweeba Augustine Kasirye, omubaka Hellen Nakimuli awamu n’abalala.

Mukuumaddamula atandikira wa Paul Ssemanda e Buyindi mu ggombolola ya  Ssaabaddu Mugoye n’ oluvannyuma aggulewo ekyuuma ky’Emmwaanyi ku kyalo Bweeya.

Bwanamala Owek. Mayiga wakugendako mu ggombolola Mumyuka Bujumba okulambula omulimi Kizza Dan Kyeeswa, ate mungeri yeemu agendeko mu gombolola Mutuba II ewa  Eugene Kitaatire e Mweena noluvannyuma ayogereko eri abantu ba Kabaka mukitundu kino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist