
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akubiriza abaana okubeera abasaale mu kulwanirira, okutaasa nokukuuma Obutonde Bw’ensi okutandiikira mumakka gyebasibuka okusobola okumalirawo dala okwoneka kw’obuttonde muggwanga.
Obubaka buno Katikkiro abutisse Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa bwabadde amukiikiridde ku mukolo gw’okutongoza Ssabbiiti y’okutaasa Obutonde Bwensi oguyindidde ku ssomero lya Mengo Senior School mu Kampala.
Kamalabyonna akinogaanyiza nti ensonga zokutaasa Obutonde Bw’ensi ziri ku mwanjo nnyo mu bwakabaka okuviira dala ku byalo okutuukira dala ku mbuga enkulu e Mengo.
Oweek Mayiga yenyamidde olwebikolwa ebityoboola n’okwonoona Obutonde Bw’ensi ensangi zino byagamba nti biviiriddeko okukosa obulamu bw’abantu mungeri ezitali zimu.
Ku lulwe Oweek Robert Waggwa Nsibirwa akubiriza abantu ba Beene okujjumbira okusimba ebibira bya Kabaka ku mitendera egyenjawulo mukaweefube w’okukuuma n’okutaasa Obutonde Bw’ensi.

Minisita wa Bulungibwansi, Obutonde, Amazzi n’ekikula ky’ Abantu, Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo yeebazizza nnyo Nnyinimu olw’okukubiriza abantu be okutaaasa Obutonde.
Ono era asabye Obuganda okusimba emiti gi Nnansangwa, egy’ebibala n’eddagala okusobola okwenganga ebizibu ebyekuusa ku kwonooneka kw’obutonde.
Owek. Nakalubo annyonnyodde nti Ssabbiiti eno ya kukomekerezebwa n’omukolo ogw’okusimba emiti egyenjawulo ku Lwokutaano nga 14 mu ssaza Butambala ku takka lya bakasimba.

Ye Omumyuka wa Kaggo Asooka Ronald Bakulu Mpagi, yeebazizza Minisita Mariam Mayanja Nkalubo olw’okukulemberamu kaweefube ono bwatyo nalaga obwetaavu obwabuli muntu okusitukiramu okutaasa Obutonde.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu mu biti ebyenjawulo okuli bannabyabufuzi, abaana b’amasomero, abasomesa n’abantu abalala bangi.









