Bya Gerald Mulindwa
Namirembe – Kyadondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka yonna gyebali okunyweza obuyonjo kibayambeko okwewala endwadde eziva ku bujama bafune obulamu obulungi obwegombesa.
Bino bisomeddwa Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika mu bubaka Katikkiro bw’amutisse mu kukuza ssabbiiti ya Bulungibwansi n’olunaku lwa Gavumenti ez’Ebitundu mu kkanisa e Namirembe.
Mu bubaka buno, Katikkiro ategeezeza nti okuviira ddala ku mulembe gwa Ssekabaka Tembo eyaleegesa eŋŋoma ‘Saagala Agalamidde’ Abaganda baamanya nnyo omugaso gw’okukolera awamu naddala kw’ebyo ebigasa bonna, bwatyo agamba wateekeddwa okubaawo okwongera amaanyi mu nkola ya Bulungibwansi.
Akinoganyiza nti mu kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko, abavubuka balina okuteekebwateekebwa obulungi, bazimbibwemu obuntubulamu n’obukulembeze ku buli mutendera. Bwatyo akoowodde Gavumenti okwegatta ku Bwakabaka okunyikiza enkola eno naddala mu kulongoosa ebibuga wakiri emirundi ebiri 2 buli .