
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza nga bweyayogedde ne Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ku ssimu era nasiima engeri emirimu bwegitambula era naasekerera abaagala okukozesa obulwadde bwa Beene okuyisaawo ebyabwe.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde mu Lukiiko lwa Buganda bw’abadde ayogerako eri abakiise mukusoma embalirira y’Obwakabaka ey’omwaka 2024/ 2025 ku Bbalaza e Bulange Mmengo.
“Akawungeezi k’eggulo nayogeddeko ne Beene ku ssimu era musanyufu nnyo okulaba nti emirimu gy’Obwakabaka gitambula. Ssaabasajja Kabaka era musanyufu olw’okuba nti abantu ba Buganda tebakkiriza kutwalibwa ba Nnakigwanyizi abaagala okukozesa obukosefu bwa Beene nga akaggi mwebanayita okutuuka ku biruubirirwa byabwe,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Mukuumaddamula Mayiga agamba nti okumanya abantu bano tebamanyi kyebaagala, Omutanda bweyali kuno nga basaba atwalibwe ajjanjabwe ate bweyatwalibwa ebweru okufuna obujjanjabi ate nebatandika okubanja nga baagala alabike nga bagamba nti Katikkiro amukwese oluusi nti ali mu buwambe nga bwekityo kizibu okumanya kyebaagala.
Ono abasekeredde nakakasa nti zibasanze abo abaagala okukozesa Kabaka nga akapiira era asabye abantu okubeegendereza kubanga abantu ekika kino si balungi kwesembereza.
Katikkiro Mayiga era ayogedde ku nteekateeka Nnamutayiika ey’emyaka ettaano emirala nategeeza nti eno erambika ebintu Buganda byegenda okuteekako essira nga muno mulimu okulima emmwaanyi abantu basobole okwegobako obwavu.
Owek. Mayiga alaze okutya olw’abantu abafunye ssente mu mmwaanyi kyokka nebadda mukunywa omwenge nebalemwa okukyusa obulamu bwabwe era naabasaba okubeera abegendereza.
Abakulembeze abasabye okuteeka mu nkola ebyo ebyasoosowazibwa mu Nnamutayiika ono ow’emyaka ettaano omuli ebyenjigiriza,eby’obuwangwa, eby’obulamu n’ebyobulambuzi Buganda esobole okudda ku ntikko.
Kamalabyonna Mayiga annyonnyodde nti embalirira eno ekoleddwa nga bagoberera emiramwa egiri mu nteekateeka Nnamutayiiika era essira liteereddwa ku butonde bwensi, okunnyikiza obuweereza, abavubuka wamu n’ensonga endala.
Owek. Mayiga agamba nti embalirira ya Buganda egenze erinnya buli mwaka era naakubiriza abantu ba Buganda okubeera abayiiya bakomye okwekubagiza kuba waliwo abaagala Buganda okukaaba buli kiseera awatali kugenda mu maaso nga wano webasinziira okusigala nga bayiiya n’okukola nga bwebabanja enfuga eya Federo.
Kamalabyonna yeebazizza abakiise b’olukiiko olw’okuteekateeka embalirira ennungi bwegiti.
Ku nsonga z’ebyobufuzi ezigenda mu maaso, Katikkiro Mayiga agamba nti ebigambo ebinene n’okuvumagana bisusse nga weetaagayo obuntubulamu n’okuwang’ana ekitiibwa wabeewo okuwuliziganya wadde nga baawula endowooza.
Ono agasseko nti eby’obufuzi omutali buntubulamu tebigenda kuzimba ggwanga naabasaba batuule basobole okwogera ku nsonga ezibaako obutakkanya bakomye okuneneng’ana.









