• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga agamba Buganda okukula kijja kuva ku ngeri gyekwatamu akatono keerina

Gambuuze by Gambuuze
June 28, 2022
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga agamba Buganda okukula kijja kuva ku ngeri gyekwatamu akatono keerina
0
SHARES
36
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti wadde embalirira ya Buganda ey’obuwumbi 157 eyasomeddwa olunaku lw’eggulo ekyali ntono naye ya byafaayo nnyo kuba yekyansinze obunene bukya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atuula ku Nnamulondo.

Okwogera bino Owek. Mayiga abadde atikkula oluwalo lwa bukadde bwa silingi 15 n’emitwalo 81 ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo.

“Okwezimba n’okulaakulana tebijja lwakuba omuntu afunye ebinene, nedda. N’ensi tezikula lwakuba zirimu eby’obugagga ebiyitiridde. Congo wano Zaire, Libya, Nigeria zirina eby’obugagga ebitalina alina naye ate zirimu obwavu obunyooka. Buganda okukula kijja kuva ku ngeri gyetukwatamu akatono ketulina,” Owek. Mayiga bw’agambye.

Ono awadde abantu ba Kabaka abaagala okugaggawala okukozesa ettaka ettono lyebalina okulima n’okulunda ekitono kyebasobola bateekewo enjawulo mu bulamu bwabwe.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga Buganda ezze ekyuuka era ensimbi z’ embalirira zikyali ntono naye bazisa kwebyo ebigasa omuntu wa Ssaabasajja  naddala nga beesigamye ku buyiiya n’obunyikivu awamu n’obwerufu wakati mu kukola obutaweera.

Ono annyonyodde nti okuva mu mwaka gwa 2017 enteekateeka ya Luwalo lwaffe eze eyongera okujjumbirwa okuva ku bukadde 202 nemitalo 19 n’ezigwamu okutuukira ddala ku bukadde 654 n’emitwalo 41 omwaka 2021, ekiraga nti Buganda egenda mu maaso.

Katikkiro Mayiga ategeezezza nti essuubi lya Buganda liri mu baana abato era nakunga abazadde bulijjo lwebaba bajja embuga baleme kubalekayo kuba babaako ebintu byebayiga era tebatera kwerabira.

Minisita Omubeezi owa Gavumenti ezebitundu Owek. Joseph Balikuddembe Kawuki yeebazizza  essaza lye Bulemeezi  olwa abantu  balyo okuva mu mbeera y’okwekubagiza nebanyikirira okukola okusobola okwegobako obwavu.

Omumyuka wa Kangaawo owokubiri Aaron Nkonge Ddamulira yebazizza Obwakabaka olw’embalirira eyatadde ekitundu kyabwe ku mwanjo mu byenjigiriza ngeno wagenda kuzimbibwayo amatendekero okwongera okutumbula ebyenjigiriza.

Eggombolola ezikiise embuga kuliko; Mutuba I Ngoma, Musaale Wakyaato, Mutuba VIII Kikamulo, Mutuba V Wabusaana ne Mutuba II Katikamu nga waliwo n’eggombolola emu evudde e Buddu Mutuba IX Kaamungobe Kabira okwongera okuwagira enteekateeka eno.

Share this:

Tags: Buganda KingdomKabaka Ronald Muwenda MutebiKatikkiro Charles Peter MayigaOluwalo
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.