
Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro, ab’omu Makaage, ne Baminisita ba Kabaka okuli Owek Israel Kazibwe Kitooke, ne Ssaalongo Sserwanga Robert, beetabye mu kivvulu kino.
Katikkiro akubirizza abayimbi okutwala omulimu gw’okuyimba nti gwe mulimu gwabwe okufaananako abasiba amataayi oba abalima emmwanyi.

Abasabye basige ensimbi zebafuna mu kuyimba basobole okweyimirizaawo mu biseera eby’omumaaso.
Yebaziza Dr. Hamza Ssebunnya olwokuwagira mukyalawe Namakula, era n’asaba abantu batwale eky’okulabirako ky’ababiri bano ekyokuwagiragana.
E kivvulu kibadde ku Sheraton Hotel mu Kampala.