Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abakungu okuva mu Rotary Uganda ne Centenary Bank okukuunga abantu okudduka emisinde gya kookolo
Katikkiro yakubiriza banna Uganda bonna okwenyigira mu nteekateeka z’eby’obulamu eziba zireeteddwa okutumbula obulamu, yakubirizza abantu bonna okujjumbira emisinde gino era yasabye n’abo abalina obusobozi awamu n’ebitongole okwongera okuwaayo okuduukirira ensonga eno ey’okulwanyisa ekirwadde kya Cancer. Katikkiro yasiimye ba memba ba palamenti abavaayo nebawayo sente akakadde kamu kamu buli omu mu nteekateeka eno. Katikkiro yayongedde okwebaza aba Rotary Uganda olw’okubeera aberufu okuba nga sente eziva mu misinde gino bazikolamu ekyo ekiba kitegekeddwa okukolebwa omwaka ogwo.
Era Katikkiro yebaziza nnyo aba Rotary Uganda olw’omutima omulungi ogulumirirwa era omwagazi ogufaayo eri abantu. Era yabebaziza okutambulira ku mulembe omugya okuba nga bayiiya, banyikivu, berufu ate nga bakozesa okwagala era n’obutagwamu maanyi kubanga ensonga eno bagitambuza emyaka kati giweze nga badduukirira abalwadde ba Cancer.
Emisinde gy’omwaka guno gya kuberawo nga 25 omwezi guno wali e Kololo ku Independence Grounds era gya mulundi gwa munaana. Emisinde gy’omwaka guno gyagulwaawo sipika wa Uganda omukyala Rebecca Kadaga wali ku ddwaliro e Nsambya. Ku mulundi guno sente ezinaava mu misinde gino za kuzimba ekyuma ekijanjaba cancer ekimanyiddwa nga “BUNKER” ku ddwaliro e Nsambya.
We always hear that drugs or money has been stolen but with #Rotary all money is used for the right purpose and for that I love Rotary for being transparent — you give us reason to participate in the run every year ~