
Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Pulezidenti wa Rotary omuggya Gavana Geofrey Martin Kitakule mu Bulange e Mengo.
Owek. Mayiga asinzidde mu nsisinkano eno n’atendereza engeri banna-rotary gye balondamu abakulembeze abeekenenyezeddwa nga balina obusobozi. Wano era alaze obwenyamivu olwa Africa okuba nti ekyasigalidde mabega olw’abakulembeze abagwenyiza ebifo ate bye byatalinaako busobozi.
“Ekizibu kya Africa kwe kulonda abantu abatasobola kubanga bangi beesowolayo nga tebannaatuuka, abantu bangi beegwangiza bwegwanyiza bifo naye nga tebalina busobozi” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro ayanirizza Gavana Geofrey Martin Kitakule mu buvunaanyizibwa obuggya era asiimye nnyo omulamwa ono gwe yalonze okutambulizaako obuweereza bwe ogugamba nti “Twegatte ku lw’obulungi”. Amusuubiza nti Obwakabaka bujja kutambula naye mu buweereza bwe nga bwe buzze butambula n’okuwagira obukulembeze bwa Rotary obw’enjawulo.

Gavana Geoffrey Martin Kitakule, ategezezza nti mu bukulembeze bwe, Rotary egenda kwongera okussa essira okutuuka mu bantu ab’emitendera gyonna era ategeezeza nti baatandiseewo n’ebibiina bya Rotary ebikozesa ennimi ennansi okuli ekikozesa Oluganda e Ssingo n’ekyolunyankole e Mbarara era bayise mu nteekateeka eno ne basaba obwakabaka obuwagizi mu mirimu gyabwe.
Ye Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda era nga yaliko Gavana wa Rotary mu Uganda ne Tanzania, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, ayanjudde Gavana ono eri Katikkiro n’ategeeza nti bamulinamu essuubi olw’obukugu bw’alina naddala mu by’enfuna n’enkulaakulana nti ajja kwongera okutumbula Rotary n’emirimu gyayo okugatta ettofaali kw’ebyo abaamusookawo bye bakozeeko.
Gavana Martin Kitakule azze mu bigere bya Gavana Ann Nkutu.









